OKUVA ku lunaku lwa Sande Munnakatemba Alex Mukulu lwe yavuluga abavubuka abato 3 mu Pulogulaamu “Yolesa Ekitone” ebeera ku ttivvi ya BBS natuuka n’okubalangira nga bwe basusse okumuwunyirira, bannaUganda bongedde okumuteera akaka saako n’okumulangira nti naye ebigambo bye yakozesa byali biwunya.
Alex Mukulu ono musajja mukugu nnyo mu kuyimba, okuzannya katemba, okuwandiika ennyimba ne mizannyo, era amaze akaseera akawerako ng’ayitibwa mu kusala empaka ez’enjawulo ez’okuyimba mu Uganda ne bweru we Ggwanga.
Wabula ku sande ewedde nga enkola ye bweri kubanga yasembayo okusalawo ku ani ayitawo, yavuluga abavubuka 3 abaali beetabye mu mpaka za yolesa ekitone nga bano baali bazinyi, n’abalangira okuwunya, ky’atamanya nti yali yeekulidde akakumbi ku kugulu.
Ono abantu ab’enjawulo baavayo ne bamutabukira olw’eneeyisa ye ku bavubuka bano, era nga bakyagenda mu maaso n’okumuvumirira nga bwatalina kisa saako okweraga mu kifo ky’okuyamba bannabitone abato, Abantu abasinga bamuvumiridde nnyo ku mikutu emigatta bantu saako ne ku mikutu gya mawulire egy’enjawulo nga bagamba nti kino ssi kye yali alina okukola nga omuntu omukulu, omukugu era eyebuzibwako ku nsonga z’okutumbula ebitone.
Abavubuka bano baasasirwa nnyo kubanga baali balabise nga n’amaanyi gabaweddemu olw’ebigambo ebyava mu musajja mukulu Alex, wabula nga enkola za Katonda bwe ziri wavaayo omu ku bayimbi abato mu Ggwanga amanyiddwa nga Bruno K, eyasalawo okunoonya abavubuka bano era naabafuna natandika okubakolako batuukane n’omutindo mu ngeri y’okusobola okubazaamu amaanyi.
Mu kiseera kino baliko woteeri kwe basuzibwa era nga balabirirwa bulungi nga bwe balinda okwetaba mu Vidiyo y’oluyimba lwa Bruno K olugenda okufuluma essawa yonna, nga muno bagenda kuba bazinyi.
Bruno agamba nti agenda kulaba nga akyusa embeera ya baana bano bonna, nti era agenda kubasasula bulungi basobole okwelabira ebigambo musajja mukulu Alex Mukulu bye yabagamba ne kigendererwa eky’okubamalamu amaanyi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com