MINISITA omubeezi avunanyizibwa ku by’empuliziganya n’okulungamya e Ggwanga Peter Ogwang akinoganyizza nti teri muntu yenna agenda kulemesa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kulayira nga bwe byogerwa abali ku ludda oluvuganya Gavumenti, nagamba nti abanagezaako okukikola tebejjusanga.
Ogwang agamba nti waliwo obubinja obwefunyiridde okuteeka amawulire ku mikutu emigatta bantu nti bagenda kwekunga balemese emikolo gy’okulayira egigenda okubeera ku kisaawe ky’amenunula e Kololo, nagamba nti bano basaaga teri agenda kubakkiriza.
Okwogera bino abadde ku Pulogulaamu ya The Morning Breeze ku ttivvi ya NBS ku lw’okusatu nagamba nti ekyetaagisa kyonna kigenda kukolebwa okwanganga abanakola effujjo nga bagezaako okukyankalanya emikolo gye yayise egy’ebyafaayo.
” Tewali muntu gwe tuyinza kugaana kulaga butali bumativu bwe naddala nga ayise mu makubo amatuufu, naye omuntu ayinza okutegeka okwekalakaasa ku lunaku lw’okulayira ate nga akozesa oluguudo lwe Entebbe abakulu bonna gye bagenda okukeera okuva teri ayinza kumukkiriza.
Bwe baba baagala okukola ekyo basabe Poliisi bagende e Namboole awagazi gye baba balagira obutali bumativu bwabwe” Ogwanga bwe yagambye nga ayanukula ku bimu ku bibuuzo eby’abadde bimubuziddwa.
Yategezezza nti Amaggye ge Ggwanga saako ne Poliisi byonna byetegeze okukuuma emirembe ku lunaku olwo saako ne nnaku zonna endala okulaba nga tewabaawo butabanguko bwonna nga abagenyi bali kuno.
Ku nsonga y’okugaananga abantu okugenda okuwummulirako mu kisaawe e Kololo kubanga kifo kya Ggwanga era kya bannaUganda Ogwang yagambye nti eno kati bakwasaayo ekitongole ekikola ku ndaga muntu era ne kifuulibwa kifo kyabuvunanyizibwa ekilimu offices za Gavumenti eziwereza abantu, kyokka nagamba nti omuntu waddembe okugenda naakeberebwa okuzuula nti talina kissi kyonna olwo nakkirizibwa okugenda mu muddo nawujjalako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com