WABADDEWO akasattiro mu kibuga kye Jinja nga poliisi eyoolayoola ebintu ebigambibwa okuba nti bibadde byategekeddwa ab’ekalakaasi abawakanya okulayira kwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Abavubuka naddala abawagira ekibiina kya National Unity Platform NUP, nga yadde akakiiko ke by’okulonda kaalangirira nti Museveni ye yawangula, bbo baagana okukkiriza eby’ava mu kulonda, era nga balemerako nti omuntu waabwe Hon. Robert Kyagulanyi Sentamu ye yawangula.
Bano babadde bajja bawera nti tebagenda kukkiriza mukolo gwa kulayira kubaawo mu mwezi gw’okutaano, era nga bagamba nti bagenda kukola eky’etaagisa kyonna okuguyiwa.
Ku lw’okubiri Poliisi ye Jinja yatemezeddwako abantu ba bulijjo abaalabye abavubuka ku pikipiki nga balina ekisawo kye bipiira kye batwala era eky’adiridde kwe kulaba nga omuliro gutandise okwaka mu luguudo wakati olumanyiddwanga Gokale.
Bano era basudde ne bipande ebiliko ebigambo nti TWAGALA BUWANGUZI BWAFFE, (we want our Victory) nga nabyo poliisi yabijjeyo n’ebitwala nga okunoonyereza ku baakikoze bwe kugenda mu maaso.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira Abbey Ngako yagambye nti kati bali ku muyiggo okusobola okuzuula abaakoze kino, nti era bwe banakwatibwa bagenda kuvunanibwa misango okuli okulya munsi yabwe olukwe saako n’obw’analukalala.
Yagambye nti balina n’amawulire nti waliwo abavubuka ab’esomye okukola bi bbomu bya mafuta ga petulooli, saako n’okwokya ekibuga kye Jinja, nagamba nti bano bubakeredde era bonna bamaze okumanya we bali ne nkwe zonna ze bategese nti era bagenda kubakwata.
Bino we bijidde nga n’omwogezi wa maggye ge Ggwanga Brig. Flavia Byekwaso yategezezza nga eby’okwerinda bwe bigenda okwongera okunywezebwa mu Kampala ne miriraano mu nnaku z’okulayira nga zituuse.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com