YADDE nga yeetondera Katonda, ekkanisa n’abakulisitaayo bonna ku lw’okuna oluwedde, Ssabalabirizi Stanely Ntagali ebigambo by’ongedde nate okumwononekera, Musumba munne gwe yayagalira omukazi ensonga az’ongeddeyo mu Kkooti nga ayagala asasulwe obukadde bwe nsimbi za Uganda 530 olw’okumujooga.
Rev Christopher Tugumehabwe, nga ayita mu ba Puliida be aba Bikangiso And Compony Advocates agamba nti ye ne Mukyala we Judith Tukamuhabwa baali bafumbo mu mateeka okuva mu 2018 oluvanyuma n’akizuula nti mukyala we ono yali ayenda ku Ssabalabirizi bwe batyo amaka ne gasaanawo.
Agamba nti mu mbeera eno afunye ebizibu bingi omuli n’okufiirwa omulimu gwe mu Ttendekero lya Barham gye yali akola.
Ono era anyonyola nti yafiirwa ekitiibwa kye nga omusumba mu bantu, kyagamba nti abamateeka balina okukitunulamu.
Bannamateeka ba Rev Tugumehabwe bagamba nti ekilungii Ntagali tavangayo kwegaana kikolwa kya bwenzi kye yakola nga tebasuubira musango guno kutwala bbanga ddene kubanga obujulizi w’ebuli.
“Ensimbi obukadde 530 omuntu waffe zaayagala kubanga yajoogebwa nnyo nga kw’otadde okufiirwa omulimu gwe ne kitiibwa mu bantu be kkanisa gy’asumba” Ba Puliida ba Tukamuhabwa bwe bategezezza.
Gye buvuddeko Ssabalabirizi we kkanisa ya Uganda Kitaffe mu Katonda Steven Kaziimba Mugalu yayimiriza munne gwe yaddira mu bigere Bishop Stanely Ntagali ku mirimu oluvanyuama lw’okukwatirwa mu bwenzi ne Mukyala wa Musumba munne.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com