EKITONGOLE kya Poliisi ye Ggwanga kinaabidde abasilikale baakyo 153 mu maaso ne bafuumulwa obutadda ku mirimu nga babalanga okwetaba mu bikolwa ebigambibwa okuba nti tebikkirizibwa omuli obutamiivu, okulya enguzi ne bilala.
Bwe yabadde ayogerako ne bannamawulire ku kittebe kya Poliisi e Nagguru omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga yakinoganyizza nti webatuukidde okukwata banaabwe ku nkoona nga kisusse nti kubanga bano abamu babadde tebeewa kitiibwa ku mirimu, okulewawo emirimu egiba gibawereddwa ne badda mu byabwe, okwetaba mu buvuyo, okwonoona ebikozesebwa bye kitongole, obutamiivu ne bilala.
Yagambye nti bakizudde nga babadde tebakyasobola kukola nabo mu kitongole kya Poliisi bwe babtyo kwe kusalawo babagobe era nga ne misango gyonna egibadde gibavunanibwa gyabasinze.
Yanyonyodde nti enkiiko zonna ezawaggulu ezifuga ekitongole kya Poliisi zaatudde ne zisalawo abantu bano bagobwe nti era waliwo nabalala 18 abalindilidde okuwebwa amabaluwa agabakakasa nti bagobeddwa nga bano baatambula okuva ku mirimu nga tebalina lukusa kuva mu bakulu ababatwala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com