OMWAMI wa Ssabasajja Kabaka atwala e Ssaza lye Kyaggwe Ssekiboobo Elijah Bogere alidde mu ttama n’alabula abavubuka mu Buganda ab’efunyiridde okulinyirira Namulondo saako n’okutyoboola Katikkiro wa Buganda, nagamba nti bano bonna bamaze okubagwa mu buufu era bagenda kubakolako ssinga tebakikomya.
Ssekiboobo eyabadde omukambwe yagambye nti tebagenda kutunula butunuzi nga abavubuka be yayogeddeko nga abaakuzibwa obubi bagenda mu maaso okumanyiira n’okutyoboola abakulembeze be Mengo okuli ne Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, nakinogaanya nti bano eyabalula esiridde singa bakiddamu.
“Tetugenda kuganya gavubuka gano bazadde baago ge baakuza obubi, era nga tegabuuliriddwa kugenda mu maaso nga gayisa amaaso mu bwa Kabaka saako n’abakulembeze be Mengo, ekyo nze Bogere ne banange tetugenda kukikkiriza kubaawo, era kati ekilungi tutegedde ababatuma saako n’ababavujirira obusente sente naddala abavumira ku mitimbagano bano abasinga tumanyi we bali era tugenda kubakolako nga bwe kyetaagisa, tetufuddeyo mu mbeera yonna.
Tutaddewo naffe ekibinja kya bavubuka abaagala obwaKabaka era ababuwa ekitiibwa nga bano be bagenda okwanganga ekibiina kya bavumirira abakulembeze ku mitimbagano saako n’abalala ab’effujjo abo bbo tugenda kubeelumbira muntu ku muntu.
Embeera eno tegenda kukoma mu Kyaggwe muno mwokka, wabula bwe kinetaagisa okulumba mu maSsaza amalala agakola Buganda tuterezeeyo nakyo kijja kukolebwa singa abaami baayo banaaba batusabye” Sekiboobo bwe yagambye.
Okwogera biino yabadde mu Gombolola ye Mpatta nga atongoza abaami ba Ssabasajja ab’emiruka saako n’ebyalo.
Yavumiridde abakulembeze abavujjirira abavubuka n’obusente sente okuvuma abakulembeze mu bwaKabaka nagamba nti bano abamu Baganda abalala bamawanga malala naye nga beeyita abaganda, kyokka nakiggumiza nti bagenda kubakolako singa bagenda mu maaso ne kye yayise obugwenyufu.
Kigambibwa nti akabinja ka bavubuka kano akalina abakulembeze abakateekamu amaanyi nga beefudde abalwanirira Namulondo era be bamu ku baagenze mu maaso n’okujjako ebyuma nga Katikkiro ayogera mu Lumbe lwe yali Sekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olw’ayabiziddwa ku kyalo Nekoyedde mu Kyaggwe ku lw’omukaaga.
Bbo abaami ba Kabaka abatuuziddwa beeyamye okulwanirira ObwaKabaka ne Namulondo okulaba nga tebinyenyezebwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com