MINISITA w’ensonga z’abakozi Mwesigwa Rukutana kata amaziga gamuyitemu nga ali mu maaso g’akulira abalamuzi mu Disitulikiti ye Ntungamo bwe yabadde amutottolera engeri gye yakwatibwamu abakuuma ddembe mu biseera by’okulonda.
Kigambibwa nti Minisita Rukutana nga 5/ 09/ 2020 yasikayo emmundu naakuba amasasi mu bbiina lya bantu elyali likungaanye nga liwaga oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti yali awanguddwa, ekigambibwa nti baali bagezaako okumulemesa okugenda awagattirwa obululu.
Mu kanyolagano omuntu waliwo abantu abaafuna ebisago bya masasi, era ne kitekebwa ku Rukutana nti ye yali amukubye amasasi kye yegaanye mu maaso g’omulamuzi eggulo.
Rukutana oluvanyuma yakwatibwa era naatwalibwa ku poliisi eyali esoose okumuta kyokka naddamu nakwatibwa ku bigambwa nti byali biragiro bya mukulu Pulezidenti.
Yatwalibwa mu kooti era naasindikibwa mu kkomera wabula oluvanyuma yateebwa ku kakalu kaayo nadda awaka, nga ennaku zino abadde agenda mu maaso n’okuwoza nga ava bweru.
Omusango gwe gwawedde okuwulirwa era kati balinda kubawa lunaku gusalibwe.
Wakati mu kkooti Rukutana yenyamidde olwa kye yayise abakuuma ddembe okumumalamu ekitiibwa nga bamukwata, kye yagambye nti tekyali kilungi ku muntu amaze ebbanga nga akolera Gavumenti mu bifo eby’obuvunanyizibwa.
“Abaana abalenzi abo bankwata bubi nnyo, nga balinga abakwata embuzi? nedda nedda owekitiibwa omulamuzi ndi musajja wa buvunanyizibwa akoledde Gavumenti eno emyaka 22 nga ndi mu bifo eby’obuvunanyizibwa ekintu ekyo kyannuma nnyo nnyabo” Rukutana bwe yagambye.
Yanyonyodde nti waliwo akabinja ka Bamafiya buli kulonda akajja mu bitundu byakiikirira ebye Rushenyi ne katabangula okulonda, nagamba nti guno ssi gwe mulundi ogusoose nga akabinja ako kava e Kampala ne kamutawanya.
Yasabye Omulamuzi addizibwe emmundu ze zonna ezamuggibwako, ze yagambye nti zonna yazifuna mu makubo matuufu.
Rev. Peter Rubambira nga ono ye mujulizi yekka Minisita Rukutana gwe yaleese mu kkooti yategezezza nti bwe baatuuka mu kitundu awaali akavuyo, abantu ne baagala okwokya emmotoka omwali mutabani wa Rukutana nga ekyo kye kyamujja mu mbeera nasikayo emundu okubagumburura, naye eky’okukuba abantu amasasi teyakirabako.
Ono avunanibwa emisango okuli okugezaako okutta abantu, Okubalumya, okwonoona ebintu n’okutiisatiisa okutuusa obulaba ku bantu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com