SSABASAJJA Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II kyadaaki yasisinkanye ba Jjajja ab’obusolya abataka be Bika bya Buganda era n’abagumya ku biliwo ebikwata ku bulamu bwe.
Ensonda zaalaze nga ensisinkano eno eyabadde ey’ekyama yagendereddwamu okulaba nga abategeeza ku biliwo mu bwaKabaka saako n’obulamu bwe obubadde bubewanisizza ennyo emitima.
Yabagumizza nti kati awulira bulungi, era nabakakasa nti ajja kutererera ddala, nti kubanga ne mirimu gye egy’obwaKabaka agitambuza kinnawadda.
“Bannaffe temulina kwelarikirira lwa bulamu bwange kubanga kati ngenze nterera era emirimu emitonotono ngikola, ekilaga nti siri mu mbeera mbi nga bwe mubadde mukimanyi” Kabaka bwe yagambye.
Kigambibwa nti bano baabadde wamu n’abataka abalala abakulu ab’ebuuzibwako ensonga mu bwaKabaka bwa Buganda era nga baatesezza ku nsonga nyingi omuli n’okulaba butya bwe bagenda okuzza emeeme za Baganda abalowooza nti obulamu bwa Ssabasajja buli mu katyabaga.
Ensonda era zaalaze nti abataka baategezezza baffe nti waliwo ebintu eby’etaaga okukyusa omuli ebifo by’obukulembeze e Mengo, saako n’emu Kabinenti, era nabategeeza nti byonna abilowozaako nga ssawa yonna Abaganda bandilaba ekyukakyuka ssinziggu e Mengo.
Mukama waffe ke tukulabyeko tuzzeemu amaanyi kubanga luli tubadde mu kutya, are era tulaba waliwo enkyukakyuka nnene mu bulamu bwo” Abamu ku Bataka obwedda bwe bawera mu maaso ge Mpologoma mu ngeri y’okumuzzamu amaanyi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com