OMUKUBIRIZA w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca Alitwala Kadaga alagidde mbagirawo akakiiko ka Palimennti akakola ku nsonga ze ddembe ly’obuntu kagenda mu kkomera e Kitalya kanonyereze ku bigambibwa nti eno abasibe abatwalibwayo batulugunyizibwa bya nsusso.
Kadaga okutuuka ku kino kyadiridde omubaka wa Mityana Munisipalite Francis Zaake okutegeeza Palimenti ku lw’okubiri nti ekiri e Kitalya kizibu nnyo nga abawagizi be kibiina kya National Unity Platform abaasibibwa mu kkomera elyo abasinga baatulugunyizibwa bya nsusso era nga n’abamu mu kiseera kino balwadde, nti kyokka ekyenyamiza baaganibwa n’okufuna obujjanjabi.
Agamba nti bwe yali agenzeeyo okubaako abasibe baakyalira abakulira ekkomera lino baasooka ne bamumma omukisa okulaba ku bantu be, nti kyokka oluvanyuma lwe bbanga eddene nga alinze baamala ne bamuggulira.
Eno yasangayo abantu bangi nga balwadde ddala, abalala nga balina ebiwundu eby’amaanyi nga kwotadde n’okulumwa emigongo egisibuka ku kutulugunyizibwa okuli mu kkomera elyo.
“Abasibe bantegezezza mbogerereyo eri Palimenti nti bali mu mbeera mbi nnyo nti era abalwadde buli lwe basaba eddagala, babawa bukerenda buweweza ku bulumi sso ssi kubajjanjabira ddala” Zaake bwe yategezezza.
Mu kwanukula Sipiika Kadaga yalagidde akakiiko ke ddembe ly’obuntu akakulirwa omubaka omukyala owa Buvuma Jenifer Nantume Egunyu okugenda bunnambiro mu kkomera lino bazuule ekituufu ekiriyo, oluvanyuma bamuwe alipoota ku nsonga eno.
Bino we bigidde nga n’eyawangula ku kifo ky’obubaka mu kitundu kya Kawempe North Muhamad Segiriinya yatwaliddwa mu ggwanga lya Kenya okwongera okwekebejjebwa nga kigambibwa nti yatuulugunyizibwa nnyo mu kiseera kye yaggalirwa mu kkomera lye Kitalya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com