Ssabasajja Kabaka ggwe ssanyu lya Baganda, ng’ogyeeko Katonda waffe ekisa kya Mukama.
Beene tuloopera nti Abaganda yonna gye bali babadde mu kyobeera kya Musajjawo Ssabasumba Cyprian Kizito Lwanga eyatuva ku maaso gye buvuddeko.
Abantu bo ate baatidde nnyo bwe wabonese nga essanyu, akamwenyumwenyu, kajambo ko bulijjo kootukubira ng’omukono guli waggulu saako n’ebigambo byo ebipime by’okozesa okulamula Obuganda n’ebitawulirwako.
Mukama wange Abaganda ne banywanyi baffe by’abasobedde!! Obulamu bwo Ccuucu butegeeza kinene gyetuli…era ne bwetulowooza obulowooza nti toli bulungi tuwulira ng’ensi ekomye.
Eyalumwa ku Musota, Beene ne bwalaba omunya adduka…ggwe kikubagizo kyaffe mu Uganda eno etwefuulidde.
Ssabasajja abantu bo abamu abagereesa ebitatuukana na mutindo gw’obutegeevu n’obuntu bulamu bwa Baganda, ennaku yebanafuyizza mu kumanya ensonga.
Ate Beene nkuba nkukube ssi bufumbo, bwatyo Mukuuma Ddamula buli lwawanvuya amaloboozi eri abavubuka abali mukutya ate abasikuula busiikuuzi. Nagino emikutu.eminyumiza waala egyali gikoleddwa okunyweza omukwano n’okumanya gifuuse gy’akutanuula ntalo!
Nannyinimu, tusaba otusonyiwe olw’embekuulo eteereddwa ku nsonga z’embuga. Maasomoogi Mukama wange, ssi buli akaaba nti alumwa…Abalabe ba Buganda bangi, beeyita amannya amapaatiike ne balyooka bamokkola agagambo! Gutusinze nnyo Ssabasajja.
Embeera gy’olimu Mukama wange mmanyi nti yetaaga bukakkamu na kukkaanya…Kekasiriikiriro abamu mwetuli…twagala Nannyinimu omwoyo gukube wamu mu kaseera kano…Tetubuusabuusa busobozi bwo mu kulamula Obuganda wadde ne mumbeera gy’etuyitamu.
Ggwe oli Mutebi,ojja kutebuuka abalabe, oli Luwanguula era ojja kuwangula neeno embeera eriwo ku lw’ekisa kya Katonda eyatuuwa Buganda ekkula.
Magulunnyondo,Kamwa kabi kassa ssiloganga…Abayogerera Buganda ebikikinike balinga abatusoomooza tusitule enyago naye ku lulwo tetujja kukikola mukama waffe.
Kyokka ate Ssabalongo ggwe wekka ggwe agaba olutabaalo…Tetuli batiitiizi ate tetuliba…ensonga yokka ekyatuwanisizza engabo mu nsonda za mayumba gaffe kwekuba nti Ssemunywa tonnagaba lutabaalo.
Tewabaawo babuusabuusa nti Kabaka waffe bw’oligwa tugenda kukubuuka tutabaale abalabe bo….Buli wabuyinza asanidde amannye nti ggwe kifundikwa ky’essanyu yaffe.
Kulwa Katonda n’ensi yaffe…Katonda ne Buganda omwoyo gumu n’emeeme emu…Ogwo ggwe mwoyo gwa Buganda ogutaffa.
Wangaala Magulu Nyondo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com