PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni era nga yeyalangirirwa ku bukulembeze bwe Ggwanga okufuga emyaka 5 egiddako, alidde mu ttama n’alagira abantu ba bulijjo bonna mu Ggwanga okutwala obuvunanyizibwa okumuloopera ba RDC bassemugayavu saako naabo abatakola mirimu gye balina okukola mu bitundu gye baasindikibwa, nagamba nti agenda kubakolako awatali kulonzalonza.
Museveni agamba nti ba RDC emirimu gye balina okukola ssi gyabwe nga abantu, wabula balina kukola mirimu gya Ggwanga era egiyamba abantu ba bulijjo, nti kyokka wabula afuna amawulire nti abasinga batulugunya abantu saako n’okulya enguzi kyagamba nti tagenda kukigumikiriza.
Okwogera bino Museveni yabadde ayogerako eri ababaka ba NRM abali mu lusilika e Kyankwanzi, nga wano we yasinzidde n’abatuma bagende bategeeze abantu baabwe bamuloperenga ba RDC abakola emirimu egyekibogwe mu bitundu gye baasindikibwa.
Yanyonyodde nti tagenda kukoma ku ba DRC bokka wabula embeera eno egenda kugendera ddala ne ku bakozi ba Gavumenti bonna ab’efunyiridde okwepena obuvunanyizibwa bwabwe mu bifo mwe bakolera.
“Ekyetaagisa kyonna ngenda kukikola okulaba nga e Ggwanga litambuzibwa bulungi era bwe kinaaba kyetaagisa kukwata ku bagamba nti tebakwatibwako ndi mwetegefu okukikola emyaka gino 5 bannaUganda gye bankwasizza” Museveni bwe yagambye.
Ababaka era bategezezza Museveni nti ba RDC n’abakulira abakozi mu ma Disitulikiti tebasula mu bitundu gye yabasindika nagamba nti yetaaga alipoota ekwata ku bantu bano nti era ab’etaagisa okukwata ku nkoona amangu ddala wakukikola okusobola okutereeza.
Wabula yanenyezza abakulembeze nti nabo beebamu ku bongedde ennyo obubbi bwe ttaka mu bitundu gye bakiikirira naddala mu Buganda, nagamba nti bano olumu bazinga buzinzi mikono mu kifo ky’okuvaayo ne ddoboozi eddene okusobola okutaasa abantu be bakiikirira.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com