OMUMYUKA wa sabaMinisita asooka Gen Moses Ali alangiridde nga bwagenda okuwagira Omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Kadaga addemu atwale mu maaso ekifo kino nga gamba nti mukyala mukozi nnyo era ye nsonga lwaki Uganda eri mu ddembe kati.
Gen Ali okwogera bino yabadde yetabye ku mukolo gwa Futaali ogwategekeddwa Sipiika Kadaga ku Palimenti, nagamba nti mukwano gwe Kadaga akyalina obumanyirivu n’amaanyi okutwala ekifo ky’obwaSipiika nti era ajja kuyamba bangi nga akirimu.
Guno gugenda kuba mulundi gwa kusatu nga Kadaga addamu okutwala ekifo kino okuva mu 2011 bwe takitwala okuva ku Edward Kiwanuka Sekandi.
Wabula Gen. Moses Ali yewunyisizza bangi kubanga ababaka basinga abava mu mabuka ge ggwanga bawagira Oulanya, era ne gye buvuddeko baavayo bonna ne balaga obuwagizi bwabwe eri omwana ava ku ttaka lyabwe wabula kati abamu ate nga banene batandise okumweyawulako.
“Maama Kadaga tukyakwagala era tukulinamu esuubi lyamaanyi, tugenda kukuwagira saako ne banaffe bwe tuli obumu okulaba nga oddamu okubiriza olukiiko lwe Ggwanga olukulu” Gen Ali bwe yagambye.
Yategezezza nti Kadaga ataddewo enkolagana ennungi naye mu kiseera nga yakulembera ebikolebwa mu Palimenti okuva ku ludda lwa Gavumenti, nagamba nti teri mulundi nagumu bwe yali amuyisizaamu maaso yadde okumukugira okukola emirimu gye nga Omumyuka wa Ssabaminisita mu Palimenti nga bwekityo alina okusigala nga ye Sipiika.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com