OMUMYUKA wa Loodi Meeya wa Kampala Doreen Nyanjura avuddeyo n’ayambalira abantu ab’efunyiridde okubika Omuloodi Wa Kampala Erias Lukwago nti yafudde, nagamba nti bagende mu maaso naye ekirungi akyali mulamu ddala.
“Kituufu Lukwago mulwadde nga abantu abalala bonna, era ali mu kujjanjabwa mu ddwaliro lya Nairobi Hospital e Nairobi, era mu kiseera kino agenze akuba ku matu kyokka abantu abalina emitima emibi bagenda mu maaso n’okumubika, tewali kye tugenda kubakola wabula tubalese bagende mu maaso bakole ogwo” Nyanjura bwe yagambye ku mukutu gwe ogwa Face Book.
Yagambye nti talaba lwaki abantu baagala nnyo abantu abali mu kunyigirizibwa obulwadde okuboogerako obubi n’okubabika kye yagambye nti kibongera kubamalamu maanyi saako n’okubanafuya.
Enkya ya leero waliwo ebifananyi by’omuloodi ebifulumye nga bilaga nti akubye ku matu era nga atambulako wabweru we ddwaliro mwajanjabirwa ekilaze nti oba oli awo yandiba nga agenze atererera ddala.
Lukwago yafuna obuzibu ku lunaku lwe yali mu Ekelezia e Lubaga mu kusabira omugenzi eyali Ssabasumba wa Kampala Cyprian Kizito Lwanga era naagwa ekigwo wansi, abaduukirize be bamuyolayoola okumutwala mu ddwaliro e Nakasero oluvanyuma yatwalibwa e Nairobi okwongera okufuna obujjanjabi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com