OMUKULEMBEZE we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni leero nga 16.04.2021 agenda kwogerako eri e Ggwanga nga asinziira e Kyankwanzi gyali kati.
Ono yagenzeeyo lunaku lw’akuna mu kawefube gwaliko okusobola okwogeramu n’ababaka bannaNRM abaggya abaalondebwa okukiikirira ebitundu bye Ggwanga eby’enjawulo mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu mu kulonda okuwedde.
Bano bagenda kumalayo sabbiiti 3 nga batendekebwa mu by’obukulembeze ne kijaasi nga enkola bwebeera bulijjo e Kyankwanzi.
Museveni asuubirwa okwogerako eri e Ggwanga ku mikutu gy’amawulire gyonna, era nga ezimu ku nsonga ezisinga okusuubirwa bannaUganda okwogerako mulimu ensonga ya Kafiyu esinze okwewanisa bannaUganda emitima.
Abantu abasinga baagala Pulezidenti omuggalo gwe kiro agujjewo, kubanga abantu balowooza nti obulwadde bukenderedde ddala nga bwekityo Kafiyu esaana eveewo.
Ensonga endala ya byakwerinda saako n’okuyimbulwa abakyasibiddwa mu makomera saako ne by’obulamu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com