ENSONGA z’obwaSipiika z’eyongedde okwefuulira amyuka omukubiriza w’olukiiko lwe Gwanga olukulu Jacob Oulanya nga entabwe evudde ku byabaddewo nga omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni asisinkanye Sipiika Rebecca Alitwala Kadaga ku faamu ye esangibwa e Kisozi mu Gomba.
Ensonda zilaga nti ensisinkano eno eyatutte essawa nga 3 nga bali 2 bokka yandiba nga ebimu ku bikulu ebyagibaddemu mwe mwabadde n’okukkaanya ku kifo ky’obwaSipiika bwa Palimenti ababiri bano bwe bakaayanira.
Kino kyeraze lwatu nti Pulezidenti ekifo ky’obwaSipiika alabika yakirekedde Kadaga kubanga kigambibwa nti abantu abaabadde balinze omukulembeze e Kisozi baasobodde okulaba Kadaga nga afuluma olukiiko nga musanyufu nnyo kye baagambye nti diiru elabika yakutuse.
Kino kyakanze abali mu nkambi ya Jacob Oulanya kubanga bulijjo babadde bamanyi nti Omukulu alabika ali ku ludda lwabwe, nti naye ke beevumbye akafubo ne Kadaga yandiba nga ayagala kukyuka.
Kigambibwa nti ensonga ezisinga obukulu saako n’okugaba ebifo byonna bitera kuggwera Kisozi era nga omukulu bwakuyita eyo omanya ebibyo biteredde oba bibiiye, kyokka kuluno ebya Kadaga byandiba nga byateredde dda.
Gye buvuddeko Kadaga yategeeza nga bwatayagalira ddala kifo kya bumyuka bwa mukulembeze wa Ggwanga, nagamba nti ayagala bwa Sipiika kubanga ye yaaba waggulu w’okusalawo mu ssiga lya Palimenti, era nasaba omukulembeze obuvunanyizibwa obwo abuwe abantu abalala ye tabwetaaga.
Kadaga era azze aky’ogera lunye nti yakola kinene okuyamba Pulezidenti Museveni okukwata ku Ssemateeka ne bajjamu akawayiro ke kkomo ku myaka gy’omukulembeze we Ggwanga ekintu ekyamuyamba okudda mu bukulembeze omulundi guno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com