OMUZANNYI w’omupiira Sulaiman Mutyaba ne banne 2 ababadde bagenze ku kitebe kya FUFA okulaga obutali bumativu eri enkola ya bakungu mu kitongole ekiddukanya omuzannyo gw’omupiira mu Ggwanga, bano bakubiddwa emiggo ne bagenda ne bisago ebyamaanyi.
Mutyaba era akwatiddwa Poliisi nga eno emutaasizza butaasa ku bakuumi abakuuma ekizimbe kya FUFA e Mengo nga bano babadde beefunyiridde okumukuba emiggo bwabadde akutte ebipande ebiriko ebigambo nti Magogo must Resign.
Wakati mu kukaaba amaziga amangi nga atudde wansi olw’emiggo eegibadde gimusiiwa Mutyaba alajanye nga agamba nti ekimukoleddwako nga alwanirira omupiira gwe Ggwanga tekibadde kilungi.
“Ddala Magogo bino byasobola okukola abantu nga nze abavuddeyo okulwanirira omupiira gwe Ggwanga n’abaana abato abalina esuubi mu mupiira? Lwaki nkubwa nga Ente n’okutulugunyizibwa ate nga nwanirira banange” Mutyaba bwabadde alajana.
Mutyaba ono badde amaze ebbanga ddene ne ku mikutu gya mawulire nga alaga obutali bumativu eri abakungu abakulembera omupiira mu Ggwanga naddala Pulezidenti Moses Magogo olw’okuyisa amaaso mu bazannyi saako n’obutabasasula nsimbi zaabwe.
Ono era abadde afaayo nnyo okulaga emivuyo n’emikwesese abakulu mwe bayita okubba ensimbi ne batakola kimala okusobola okusitula omutindo gw’omupiira mu Gwanga.
Mutyaba oluvanyuma atwaliddwa ku Poliisi.
Gyebuvuddeko Pulezidenti we kitongole kya FUFA Moses Magogo yavaayo nalaga obusungu eri abasambi ba ttiimu ye Ggwanga be yayogerao nga abatafaayo kusamba mupiira mulungi era nagamba nti tajja kubasasula nsimbi ze bagamba ze babanja olw’omuzannyo ogw’ekibigwe gwe bayolesa mu mpaka z’okusunsulamu eza Africa.
Kino kyajja banabyamizannyo bangi mu mbeera era ne batanula okwogerera Magogo ebisongovu nga bagamba nti ayitirizza okwemanya kye bagamba nti tekigenda kutwala mupiira mu maaso nga asaana alekulire omulimu guno.
Yadde nga Magogo kati yafuuka Mubaka mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu owe Budiope, kyokka yavaayo nalangirira nga bwagenda okuddamu okwesimbawo ku kifo ky’obwaPulezidenti bwa FUFA addemu akulembere ekitongole kino.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com