Wabaluseewo olutalo wakati wa Basumba ba balokole okuli Omusumba aloysias Bugingo ow’ekkanisa ya House of Prayer Ministries International esangibwa e Makerere wamu ne n’omusumba Robert Kayanja owa Miracle Centre Cathedral e Lubaga nga entabwe eva ku Bugingo kyayita okumumanyiira nga batetera n’eyali mukyalawe omukulu Teddy Naluswa Bugingo.
Kino kidiridde Omusumba Kayanja okutandika okulaga nga bwalina okukola ekyetaagisa kyonna okulaba nga Bugingo ne Mukaziwe Naluswa baddingana mu bufumbo, mwe baali baafuna obutakkanya emyaka 2 emabega.
Kinajjukirwa nti ensonga za Bugingo ne Mukaziwe ziri mu mbuga za mateeka era nga Bugingo yasaba omulamuzi abagattulule nga asinziira ku nsonga ze yatekayo zagamba nti takyasobola kubeera mu bufumbo ne Naluswa.
Wabula nga ensonga zonna zigenda mu maaso mu kkooti ate walabiseewo bannamateeka abalala abawolereza Naluswa nga bava mu kkampuni ya Katende Sempebwa And Compony Advocates, ekyatiisizza ennyo Bugingo navaayo nategeeza abantu be baasumba ku Canaan Land e Makerere nti lino kobaane lya Kayanja ne Mukaziwe Jessica Kayanja okutandika okuyingirira ensonga ze nga tebamwebuuzizako.
Bugingo yagambye nti bwe yali akyali ne Mukyalawe Naluswa tebalina yadde omukwano wakati waabwe ne Famire ya Kayanja, nayongerako nti mu bantu baamanyi abatamwagalizangako kilungi munsi ne Kayanja mwali, era nga kino kyamukubye wala okulaba nga ate yoomu ku balaga ekifananyi ky’okulumirirwa amakaagwe, kyagamba nti tekisoboka.
“Omusumba Kayanja nga musumba munange tankubirangako ku ssimu yadde nga ampita twogere ku nsonga za maka gange, Tamapadiikirangako yadde okuntumira ku bikwata ku nsonga za maka gange, kubanga tewali nsonga yonna eyinza kundobera nze Bugingo kugenda kwogera naye, wabula nange mpulira buwulirizi nti batetera n’eyali mukyala wange.
Kino kyampadde obukakafu nti bwe twazeeyo mu kkooti nasanze ba Puliida ba Sempeebwa Ssezaala wa Kayanja kati be bawolereza mukyala wange ne ndabira ddala nga ekkobaane lino ddene naye byonna tujja kubivvunuka kubanga nze sidda gye nava ngenda mu maaso” Bugingo bwe yagambye abagoberezi be baabadde bamwegese amaaso ku lunaku lwa Paasika.
Bugingo yaweze okuggula ku Kayanja omusango gw’okweyingiza mu nsonga z’amakaage nga tamukkiriza, era nagamba nti ye amanyi nti ensonga ze yateeka ew’omulamuzi zimalira dda okubawukanya ne Teddy obutadingana emirembe gyonna.
Amaka g’omusumba Bugingo gaasasika gye bwavaako nga entabwe yava ku baana era Bugingo nasalawo okwabulira amakaage agasangibwa ku lw’eNtebbe era nasalawo okwefunirayo omukyala omulala amanyiddwanga Susan Makula nga ono yali omu ku bakozi ku Leediyo ya Salt FM eya Bugingo.
Ennaku zino Bugingo alindirira nsalawo y’omulamuzi ku bikwata ku kwawukana kwe yasaba mu kkooti olwo agende mu maaso awase omugole Makula mu butongole.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com