BANNAMAWULIRE balajanidde abakulira Amaggye ne Poliisi ya Uganda okuvaayo okukoma ku basajja baabwe balekere awo okubakubira obwerere nga bakola emirimu gyabwe.
Bategezezza nti enkolagana wakati waabwe ne bitongole bye by’okwerinda elabika yaggwawo dda, nti kubanga tebasobola kukola mirimu nga ate be balina okukola nabo babatuntuza ng’ekyokuttale.
Okwogera bino babadde ku mukolo kwe batongolezza alipoota ekwata ku ddembe lya bannamawulire nga bwe liyimiridde mu Ggwanga omwaka 2020-2021, eyakoleddwa ekitongole ekilwanirira eddembe lyabwe ki Human Rights Network for Journalists Uganda (HRNJU), era nga baasobola okuzuula emisango 174 egyekuusa ku kutulugunya Bannamawulire.
Alipoota elaze nti ekitongole kya Poliisi kye kikutte akati mu kutulugunya Bannamawulire era nga emisango 104 ku egyo 174 beebagizza.
Emisango egisinga obungi poliisi yagizza mu kiseera kya byakulonda okwakaggwa nga wano bannamawulire abasinga baakubwa, okusibirwa obwerere saako n’okwononerwa ebintu byabwe ebikozesebwa mu kusaka amawulire eby’omuwemndo.
Kino kyaddirirwa Amaggye ga UPDF nga gano emisango 31 gyegazza mu bulumbaganyi obwatuusibwa ku basasi bamawulire naddala mu biseera e Ggwanga nga lisibiddwa olw’ekirwadde kya COVID 19 mu mwezi gw’okusatu omwaka ogwaggwa okusinziira ku alipoota.
Ababaka ba Pulezidennti mu bitundu eby’enjawulo RDC’S nabo banokoddwayo nga nabo baafuuka kizibu eri abamawulire mu bitundu gye bakolera, nga okutiisatiisa saako n’okuggala emikutu gya amawulire nabyo baabifuula mugano mu kiseera ky’okulonda.
Akulira ekitongole kya HRNJU Robert Sempala bwabadde asoma alipoota eno agambye nti kyenyamiza kubanga abakuuma ddembe abalina okukola ne bannamawulire ate be basinga okubatulugunya kyagambye nti kilina okukoma bunnambiro.
“Tusaba Pulezidenti atandike okutulabawo sso ssi kututwalanga abantu abakola olugambo kyokka, ffe tuli bantu baakulembera era abalina omugaso mu Ggwanga, Twagala abakulira ebitongole by’okwerinda bakome ku basajja baabwe balekere awo okututulugunya kubanga okubeera munnamawulire ssi musango” Sempala bwe yategezezza.
Ambasada wa America mu Uganda Natalie Brown yalaze obwetaavu eri abakulembeze ba Uganda okwongera okukwatagana ne bannamawulire kubanga bwe baba nga tebaliiwo e Ggwanga teritambula kubanga tewabaawo muntu afuna bikwata ku kitundu gyatabadde.
Ekitongole kya Poliisi tekyakiikiriddwa ku mukolo guno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com