ABATUUZE ku kyalo Yibaale mu Gombolola ye Bulongo e Sembabule bagudemu entiisa oluvanyuma lwa mutuuze munaabwe ofa mu ngeri atategerekeka kyokka n’aziikibwa ku saawa ttaano ez’ekiro.
Eyafudde yategerekese nga ye Sezibwa Umaru Robert 45 nga yali mulaaro mumaka ga Mulunda William era nga ku kitundu ekyo abadde amazeeko emyaka egisoba mu 3 nga yali yava mu Disitulikiti ye Ntungamo mu kitundu kye bayita Lubaale.
Akankwasa abudul Akim mutabani w’omugenzi agamba nti okuva okulonda lwe kwaggwa ab’omukyalo bamutegeeza nga bwe babadde bamaze ebbanga nga tebawuliza muntu waabwe nti kyokka baafunye essimu okuva omugenzi gy’abadde abeera nga babategeeza nga bwe yattibwa era ab’amutta ne bamuziika saawa taano(5) ez’ekiro.
Yagambye nti bano baasitukiddemu okujja ku kyalo gyabadde akolera kyokka ne basanga baamala dda okumuziika.
Bano baalumirizza Poliisi okw’ekobaana n’abagambibwa okutta omuntu waabwe, nti kubanga yafa ne babalagira okumuziika kyokka nga tebalanze yadde nga kino bagamba nti kyakolebwa mu nkukutu.
Bayongeddeko nti omuntu waabwe yandiba nga yattibwa buttibwa okusinziira ku mbale ezamubaddeko ku mutwe ne mu bulago era nti ekilala ekyasinze okubewunyisa kwe kuba nti bwe yafa teyatwalibwa mu ggwanika wabula basalawo kumuzinga mu biveera olwo ne baziika.
Kizza Alex Kwosa ne Mpangana Deus nga nabo baluganda lwa Sezibwa bagambye nti omugenzi abadde yabategezaako nga bwabanja mukamaawe ensimbi akakade kamu n’emitwalo nsavu(1,700000) era nti mu nju ye mwabadde abeera basanzeemu endagaano ezibanja sente ezo.
Ye Mulunda William abadde mukama wa Sezibwa yanyonyodde nti omugenzi alabika abadde n’obulwadde bw’omutwe ate ye kyabade tamanyi, nagamba nti yasooka kubabulako wabula mukumunoonya basanga yagude muluzi era nti yakwatagana ne Sentebe w’ekyalo ne bagenda ku poliisi y’omuNtuusi nejja ne babalagira okuziika nti kyokka bananyini mufu bwe balabise ate poliisi ne yegaana eky’obalagira okuziika.
Agamba nti yasoose kugaana kuziika muntu ono nti kuba yabade tanafuna bantube wabula poliisi ne mugamba agende maaso nokuziika wabula nti yabade yakamala okuziika ate ne balabika.
Omwogezi wa Poliis mu ttundu ttundu lye Masaka Muhammad Nsubuga yagambye nti aba Famire baamaze ne bakkaanya nti omuntu teyattibwa buttibwa okusinziira ku ku alipoota za basawo ab’ekebezze omugenzi, era baamuwadde abantu be bagende bamuziike
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com