OMUBAKA omulonde owa Kawempe North Mohammad Segiriinya kyadaaki ayanukudde ku bigambibwa nti teyasoma era akolera mu mpapula ez’obuyigirize ezitali zize.
Ono agamba nti empapula ezize entuufu azirina nti kyokka tagenda kuzilaga muntu yenna okujjako nga ekiseera ekituufu kituuse era nga n’omusango gwengedde.
Okusinziira ku katambi ke yatadde ku mukutu gwe ogwa Twitter yategezezza nti kano kandiba akatego abatamwagaliza ke baagala okumutega akagwemu, mbu abalage ebiwandiiko bye ebituufu kyagamba nti tagenda kukikola mu kiseera kino.
“Ndi mugezi nnyo siyinza kwemalamu kati nabiwandiiko ebyange bye mmanyi nti bituufu, wabula ngenda kulinda abo abagamba nti sibilina baleete obujulizi awo nange ndyoke nzijeyo ebyange twabike bulungi mu kkooti” Segiriinya bwe yagambye.
Yategezezza nti abatamwagaliza kifo kye Kawempe North baagala ajjeyo empapula ze entuufu olwo balyoke bazimbire okwo ebyabwe era bamusuule mu katego kaabwe kaamanyi obulungi, nagamba nti bano bakoze ebintu bingi okumusuula naye tabatidde bagende mu maaso kubanga bamulemwa dda.
Ekitongole kye bigezo mu Ggwanga nga 17 omwezi guno kyawandiika nga kigamba nti e nnamba U005/054(2017 eyabawerezebwa okuzuula ani nnyiniyo baakizuula nti ya muwala Nampiima Sarah eyali asomera mu ssomero lya Mengo SS sso ssi Segiriinya Richard eyatuulira ebigezo ku ssomero lya Pimbas Secondary School.
Bino byonna byazuulibwa Peter Anywar eyawandiiika ku lwa Senkulu we kitongole kye Bigezo Dan Odong.
Sulaiman Serwadda Kidandala gye buvuddeko yawalala Segiriinya namutwala mu kkooti nga agamba nti ebimu ku biwandiiko by’obuyigirize bye yakozesa okwesimbawo si bibye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com