ENKALU z’eyongedde okunoonya obukongovule, olw’okaano ku kifo ky’obwaSipiika lw’eyongeddemu ebbugumu.
Gyebuvuddeko ekifo kino kibadde kivuganyizibwa abantu 3 okuli akilimu kati Rebecca Alitwala Kadaga, Omumyukawe Jacob Oulanya saako ne Ibrahim Semujju Nganda nga ono ye Nampala w’oludda oluvuganya mu Palimenti.
KU lw’okubiri bano beegattiddwako Eng. Richard Sebamala nga ono ye Mubaka omulonde akiikirira ekitundu kya Bukoto Central e masaka.
Sebamala ow’ekibiina kya Democratic Party DP, ye yawangula omumyumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Sekandi eyali amaze emyaka egisukka mu 20 nga ye Mubaka mu kitundu kino.
Ono agamba nti ezimu ku nsonga ezimujjeyo yesimbewo kwe kuba nti abantu bonna abaagala ekifo kino bakulu nnyo abatakyasobola kubaako kye bakyusa mu lukiiko lwa Ggwanga olukulu.
Anokoddeyo kwelumaluma okuliwo ennaku zino wakati wa Kadaga ne Oulanya, nagamba nti omu ku bano ne bwanawangula era tewali kigenda kukyuka kubanga buli omu alina abawagizi ababe nga kitegeeza nti bwe wabaawo ayiseemu ajja kunyigiriza abatamuwagira awo obwenkanya mu kuteesa bubulewo.
“Nze njagala kujja ntekewo essuula empya mu lukiiko lwe Ggwanga nga buli muntu awebwa omukisa okuteesa ku bizibu ebiluma ekitundu kye era bisalirwe amagezi sso ssi ntalo ze tubadde tulaba mu lukiiko nga abamu ku Babaka beemulugunya olw’obutawebwa mukisa kwogera olw’okuba balina oludda lw bawagira ku mulundi ogwayita” Eng Sebamala bwe yagambye.
Yanyonyodde nti mu kiseera kino alina ababaka abasukka mu 20 baamaze okukwatagana nabo okulaba nga baggusa ensonga eno, nagamba nti bano be bagenda okw’ogereza banaabwe okulaba nga bafuna obuwagizi obunabatuusa okukwata entebbe y’obwaSipiika.
Sebamala musajja muyigirize nga Yinginiya omutendeke okuva mu Ttendekero ekkulu e Kyambogo saako ne Diguli ey’okubiri gye yafunira mu Ggwanga lya Bugereza mu kuzimba.
Alina amakkampuni agakola ku by’okuzimba enguudo n’amayumba, era nga yakolako nga Yinginiya wa Munisipaari ye Iganga mu Busoga.
Yettanira nnyo okukolera n’okumanya ebiluma abantu ba wansi saako n’okubikolako, nga yeemu kunsonga lwaki yasobola okuwangula nnamba bbiri we Ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com