WABALUSEEWO obutakkaanya wakati mu bazukulu b’eyali Sseekiboobo w’esazza lye Kyaggwe Ham Mukasa olwabatamanya ngamba ab’efunyiridde okutunda ettaka lye mbuga ya Jjajjabwe esangibwa mu kibuga Mukono.
Wetwogerera bino embuga eyali etudde ku takka eriweza yiika 70 n’omusobyo lyonna ly’atundwa abamu ku bantu abeyita abazukulu ba Ham Mukasa.
Enyumba eno yabyaffayo era nga abantu bangi mwebakulidde nga kwosa ne ssaabasajja kabaka wa Buganda n’abwekityo kyamugaso obutagikiriza kusanawo.
Ham Mukasa Galabuzi omusika omukulu mu nyumba ya Ham agamba mweralikirivu nti enyumba ya Jjajjawe yandikwata ekkubo lye limu nga eya Kisingiri, Stanlas Mugwanya ne
sir Appolo Kaggwa nti kubanga zonna zasanawo ate nga abantu abo gwe musingi Buganda kwe yazimbirwa.
Nga ojeeko okusanawo Kw’obutaka bwa Ham Mukasa e Nasuuti bano era banokoddeyo n’ebintu ebilala okuli etakka lya jajja wabwe elitundiddwa mu mankwetu nga balumiriza mwanyinabwe Betty Nanteza Nabeta okuba mu kobaane ly’okutunda okumalawo byonna.
Kumbuga eno kwe kuli agaali amakaage ga Sekiboobo Ham Mukasa agamanyiddwanga Lujjonjoza, ekijja, emmotoka ye eyekika kya rolls royce awamu ne nyumba eyittibwa ekiteteyi n’ebintu ebilala nga byona byolekedde okusanawo kye bagamba nti tebagenda kikikkiriza.
Gye buvuddeko ekifo kino kyatongozebwa ekitongole kyebyobulambuzi mu gwanga ekya Uganda Tourism board okuba eky’obulambuzi ne kkadiyizo Community museum.
Galabuzi ne banne baalabude abo abeyita ab’enju ya Ham okulekelawo okusanyawo omukululo gwa Jajjaabwe Ham Mukasa era nawanjagira abakulu okuva mu Buganda okusitukilamu bajje batunule mu nsonga zino.
Era yalabude abo bonna abaagula awamu naabo abagaala okugula ettaka okutudde embuga eno nti tewatundibwa kubanga kifo kya Nnono nti era anagulako ajja kuba aguze mpewo.
Aba Famire era baalaze nti munaabwe gwe balumiriza okutunda Nanteza Betty Nabeeta nti mwebolereze tabalinaako kakwate mu musaayi ngakino kibaviriddeko okusaba kkooti ebakkirize ono akeberebwe endaga butonde enkayana ziggwe.
Wabula Nanteza ayogerwako bwe yatuukiriddwa ku ssimu yagambye nti ensonga zino tayagala kuzoogerako kubanga ziri mu kkooti
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com