OMUKULEMBEZE we kibiina kya National Unity Platform NUP era nga yavuganyako ku ntebe y’obwa Pulezidenti Robert Kyagulanyi Sentamu akwatiddwa Poliisi ku mande bwabadde akulembeddemu bannakibiina banne okwekalakaasa mu mirembe nga bawakanya obutayimbulwa bwa banaabwe abaakwatibwa gye buvuddeko.
Ono okukwatibwa asangiddwa mu kibangirizi kya SSemateeka mu Kampala era nga mu kiseera kino ye ne banne bakumirwa ku poliisi ya CPS mu Kampala.
Poliisi ebadde tenavaayo kubaako kye yogera ku nsonga eno, naye bwe yabadde ayogerako ku mikutu gy’amawulire ekiro ekyakeesezza Sunday Kyagulanyi yagambye nti bagenda kuluma n’ogwengulu okulaba nga banaanbwe bonna abaakwatibwa bayimbulwa, nti kubanga tebalina musango.
Yakaatirizza nti aba NUP baagala okwekalakaasa ke nga kwa mirembe era nga tewali alina kissi kyonna balage nti beetaaga banaabwe okuteebwa.
Ensonda ziraze nti mu budde ssi bwe wala Kyagulanyi ajja kuyimbulwa addizibweyo mu makaage agasangibwa e Magere.
Mu kiseera kino abantu bangi naddala abavubuka ba NUP bakyali mu makomera ag’enjawulo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com