KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga akunze abavubuka bulijjo okukuumanga empisa mu mizannyo, kyagamba nti kye kikulembera obuwanguzi bwa tiimu mwe bazanyira saako nabo nga abantu.
“Empisa kintu kikulu nnyo mu mizannyo kubanga bangi abalemeddwa okufuna mu mizannyo lwa mpisa mbi nga ate ebitone babilina” Omukuuma ddamula bwe yategezezza.
Okwogera bino yabadde aggulawo ekikopo ky’omupiira ekimanyiddwanga SEBAMALA CUP eky’ategekeddwa eyawangula ku kifo ky’obubaka bwa Palimenti mu kitundu kye Bukoto Central Richard Sebamala.
Ekikopo kino kitegekebwa buli kiseera mazuukira ga Kristo mu kitundu kye Bukoto Central era nga kyetabiddwamu amatiimu okuva mu miruka 9 ne tiimu 11 okuva mu magombolola 2 okuli Kyanamukaaka ne Kyesiiga.
Katikkiro era yanyonyodde abavubuka nti balina okukozesa emizannyo gino egitegekebwa abakulembeze baabwe nga omukisa okusobola okwegatta, okusanyuka, ebyenfuna saakon’okuzimba ebitone byabwe basobole okubifunamu.
Eyategese ekikopo kino Richard Sebamala yagambye nti kawefube ono amutaddemu obukadde bw’ensimbi za Uganda 10 nga muno mugenda kubaamu ebirabo ebikalu saako ne nsimbi enkalu eri abawanguzi.
Yanyonyodde nti empaka zino zakwetabamu tiimu z’abakyala saako n’abaami, wabula n’alabula amatiimu aganetaba mu kukola effujjo wakati nga emizannyo gigenda mu maaso nti gakuwanduukululwa mu mizannyo amangu ddala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com