ABAKULEMBEZE mu Ssaza lye Nakifuma ennaku zino batuula bufofofo wakati mu kusala entotto butya bwe bagenda okwekutula ku Mukono nabo bafune Disitulikiti eyabwe.
Kino bafuba kibeewo mu mwaka gwe byensimbi ogujja, era nga ekiteeso kyatuuse dda mu lukiiko lwa Disitulikiti saako ne Palimenti ye Ggwanga.
Nakifuma mu kiseera kino elina amagombolola 5 okuli Nagojje, Ntunda, Kimenyedde, Kasawo Rural, Seeta-Namuganga, nga kwotadde ne Town council 3 okuli Nakifuma-Naggalama, Kasawo TC saako Namataba.
Okusinziira ku kitongole ekikola ku kubala abantu UBOS, kilaga nti e Ssaza lino lilina abantu 229,800 era nga kati beelonzeemu akakiiko akagenda okuddukanya ensonga eno.
Hajji Ali Kalungi, nga ye Ssabawandiisi wa kakiiko kano agamba nti ekintundu kye Nakifuma okufuna Disitulikiti kigenda kwongera okusitula embeera y’abantu mu kitundu kino, okutuusa obuwereza ku bantu ba wansi amangusaako n’abaana be kitundu okufuna emirimu.
“Tetulina kye tufunye Mukono era enguudo mu kitundu kyaffe gye zisinga okuba embi, nga abantu batwala obudde bungi okutambula okuva mu gombolola emu okudda mu ndala olw’ebinnya abiyitirivu mu nguudo” Kalungi bwe yagambye.
Ebyenjigiriza Kalungi agamba nti bili mu mbeera eyelarikiriza olw’abakola ku by’okulambula amassomero okutya okugenda mu makubo agajjudde enfuufu obuserezi mu budde bwe nkuba ne binnya.
Eby’obulamu agamba nti nabyo tebili bulungi olw’okuba mukiseera kino balina obulwaliro obutono Health Centre ii 4 saako n’agaddirira health centre iii 2 gokka ate nga ne ddagala lyakwegayirira.
Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu Raphael Magyezi ywadde amagezi akakiiko akalafuubana okuggusa ekya Disitulikiti ye Nakifuma nti balina okugoberera emitendera emituufu nga lwe banafuna kye baagala.
Ssemateeka we Ggwanga owa 1995 akatundu ake 179 kakkiriza Disitulikiti enkulu okusala ensalo za Gavumenti ye bitundu endala munda mu yo, kyokka era Ssemateeka awa ne Palimenti obuyinza obw’enkomeredde okukkiriza Disitulikiti empya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com