BY JEFF KAWEESA
ABAKYALA banna Kisiinde Kya People Power baasanyalaza emirimu ku Disitulikiti ye Wakiso ku mande bwe baakutte ebipande ne bafukamira wakati mu luguudo nga balaga obutatali bumativu bwabwe ku ngeri ebikolwa by’okutyoboola eddembe ly’abakyala
Bano bategezeza nti tebetaaga kukuza lunaku lwa Bakyala ng’abaana babwe baawambibwa nga nakati tebamanyi mayitire gaabwe.
Baabadde bakulemeddwamu Omubaka wa Wakiso Omulonde Betty Ethel Naluyima bakedde kugumba ku luguudo oludda ku kitebe kya District ye Wakiso nga balaga obutali bumativu bwabwe olw’ebikolwa bye bagamba ebyo okutyoboola eddembe ly’obuntu ebisusse mu Ggwanga nga bino bikolebwa ku bakyala.
Naluyima agamba nti kikyamu abakyala okukungaana ne bakuza olunaku lunno nga bangi kubaana babwe ob’obuwala bali mumbeera mbi mumalwaliro gyebazalira saako abandi okukwatibwa ne batulugunyizibwa olw’ebyobufufuzi
Bano bakira bakutte ebipande okuwandikiddwa obubaka obw’enjawulo nga batudde wakati mu luguudo era bategezeza nga bwe batasobola kukuza lunaku luno nga banji ku baana baawe bavundira mu makomera nga nabalala battibwa ku nsonga ezekuusa ku byobufuzi.
Bino byonna bwedda bigenda mu maaso nga poliisi ebassizza kasiiso era balabiddwako nga balagira omubaka ono okulagira abantu okuva mukitundu kino.
END
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com