Bya Jeff Kaweesa
Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni akubirizza bannaUganda okukola ennyo bave mukwogera obwogezi.
Pulezidenti agamba nti abantu abangi bamala obudde mu bitaliimu nga n’abamu bakolera lubuto lwokka ekintu ekibakuumidde mu bwavu nga tebalina bintu mwebajja nsimbi kwekulakulanya.
Okwogera bino abadde mu kukuza olunaku lw’Abakyala mu nsi yonna era nga emikola emikulu gibadde mumaka g’obwa Pulezidenti Entebbe.
Uganda yegasse ku Mawanga amalala okukuza olunaku lw’Abakyala mu nsi yonna era nga emikolo emikulu gibadde gy’akubeera mu disitulikiti y’e Wakiso wabula olw’ekirwadde kya Covid 19, gikwatiddwa mu maka g’omukulembeze Entebbe nga abantu babadde balubatu abagwetabyeeko.
Pulezidenti yabadde omugenyi omukul , Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga, Minisita w’ekikula ky’abantu n’obyobuwangwa Peace Mutuuzo, baminisita abalala nga kwogasse n’ababaka b’amawanga ag’enjawulo.
Batandise n’okusaba okukulembeddwamu Bishop Joshua Lwera kyokka mukwogera kwa Pulezidenti alaze obwenyamivu olw’abannayuganda abawereraddala ebitundu 68% okuba nga bakolerera mbuto zaabwe zokka nga tebafissaawo kasente kwejja mubwavu kyayogeddeko nga eky’obulabe eri enkulakulana mu maka gyalwanirira buli kadde.
Wano Pulezidenti Museveni wasinzidde n’ategeeza nga mu Manifesto ye ey’ekisanja bwagenda okufa ennyo kukyokuterereza bannayuganda embeera basobole okuyingiza ensimbi bawone embeera embi.
Ayongeddeko nakubiriza bannakibuga okukola bave mu wolokoso okwogera buli byebasanze nebyebatamanyiiko mutwe namagulu.
Ye Minisita Omubeezi ow’ekikula ky’abantu n’obuwangwa asiimye govt okuteekawo enteekateka ez’enjawulo okulaba nga batumbula abakyala.
Ate Ssentebe w’akakiiko akakulembera abakyala muggwanga aka National Women’s Council Hajat Faridah Kibowa ategezezza nga abakyala bwebakoseddwa ennyo olw’omugalo mu biseera bya covid nga kino kyongedde obutabanguko mu maka gaabwe.
Olunalu lwabakyala ku mulundi guno lukuziddwa ku mulamwa ogugamba nti “Okuzimba amanyi g’Abakayala okusobola okuterereza ebiseera byabwe eby’omumaaso mu mbeera y’ekirwadde kya Covid 19 kino”.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com