SSABASAJJA Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ku lunaku lw’omukaaga teyalabiseeko mu kisaawe ky’omupiira ekya St. Mary’s Kitende awabadde wategekeddwa fayinolo z’omupiira gw’aMasaza olw’ensonga nti yabadde akyaddeko mu Ggwanga lya Kenya ng’aliko emirimu gy’obwaKabaka emitongole.
Kyategerekese nti Ssabasajja wano mu Uganda yavaawo ku lunaku lw’akutaano nga yatambulira wansi okuyingira Kenya, yayitira ku nsalo e Malaba era okusinziira ku bakulu mu Ggwanga lya Kenya baali bamusuubira nga yatuuka bulungi ddala.
Ali ku obugenyi obutongole nga waliwo mikwano gya Buganda egy’akyadde e Kenya gy’abadde alina okusisinkana e Nairobi.
Abagenyi baabadde tebasobola kujja wano ate nga yabadde alina entekateeka y’okubalaba okumala akaseera.
Abagenyi be kyategerekese nti baavudde mu Ggwanga lya Bufalansa, nga baalulyo lulangira abalina entekateeka ezigendereddwamu okukulakulanya Kenya ne Buganda.
Waliwo n’abantu abalala abakulu Omutanda baagenda okulaba e Kenya, nga muno mulimu Pulezidenti Uhuru Kenyatta saako n’akulira oludda oluvuganya Gavumenti ya Kenya Laira Odinga.
“Beene antumye okwebaza abategesi n’abo bonna ababadde bamulinze mu makubo. Naye Omutanda mujja kumulaba amangu ddala. Mwebale nnyo” Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yategezezza abaabadde mu kisaawe e Kitende.
Gomba yawangudde omupiira gwa Masaza 2020 nga yakubye Buddu goolo 3-1.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com