OKUVA okulonda abakulembeze ba Palimenti bwe kwaggwa ababaka abasinga okuli abakomawo saako n’abo abayingira batuula bufofofo okulaba nga bafuna Omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga omuggya.
Embilanye esinga eri wakati w’omumyuka wa Sipiika Jacob Oulanya ne Sipiika aliko kati Rebecca Alitwala Kadaga nga ekifo kino yakakimalamu emyaka 10.
Ensonda ziraga nti waliwo olukwe olwekusifu olutekeddwatekeddwa okulaba nga Oulanya awangula ekifo kino, era watereddwawo abantu ne bitongole eby’enjawulo okulwana kye bayise olutalo lw’okwekutulako Kadaga.
Muno mulimu Ababaka ababadde mu Palimenti kyokka nga baakomyewo naddala abali mu kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM nga kw’otadde ne ba Minisita abasinga omuli n’abatayita mu kalulu.
Ababaka abaggya nabo batereddwako essira era nga kati buli kadde bafuna amasimu ag’okumukumu agabasaba okulonda Jacob Oulanya ku bwa Sipiika, muno bamu basuubizibwa ebifo ku bukiiko saako ne nsimbi okweyozaako ennaku ya kalulu.
Ababaka abatayita mu kalulu nabo tebalekeddwa bbali kubanga ababalira Oulanya bagamba nti bano nabo basobolera ddala okubaako kye bakola okulaba nga bakuyega banaabwe ababawangula okulaba nga banoonyeza Oulanya akalulu awangule ekifo kino.
Bannamawulire naddala abagasakira mu Palimenti n’abakolera ku mitimbagano nabo tebalekeddwa bbali mu kawefube ono, nga bagamba nti oba oli awo banafuna ku mugaati gwe Ggwanga b’ekulakulanye nga Oulanya ye Sipiika.
Ezimu ku nsonga ababaka abawagira Oulanya ze basinga okwesibako kwe kuba nti Sipiika Kadaga asosola mu Babaka era nga wakizuula nti tomuwagira afuba okukulemesa okubaako ky’oyogera wakati mu kukubaganya ebirowoozo mu palimenti.
Ekilala obutakwata budde, Ababaka bangi bazze beemulugunya ku Kadaga nga bagamba nti Olumu alwawo okuyingira mu lukiiko kino ne kiletawo okunyuka nga obudde bugenze bangi ne bakoowa.
Okuleka ensonga mu ddiiro nga teziwedde nayo nsonga nkulu nnyo emulangibwa ne bilala bingi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com