Abatuuze e Sembabule balajanye olwe ddwaliro lyabwe eddene mu kitundu elya Sembabule Health Centre iv okumala ebbanga nga telirina masanyalaze ekivuddeko okukalubya eby’obujjanjabi mu kitundu.
Embeera eno evuddeko okuba nti abasawo mu ddwaliro lino tebakyasobola kukola ku bantu abalina ebilwadde eby’etagisa amasanyalaze okubaako.
Abalwadde abasinze okukosebwa embeera eno mulimu abalwadde ba Aniya, ab’okukebera omusaayi n’abalala nga bano buli lwe bajja okufuna obujjanjabi bategezebwa nti bagira balindako amasanyalaze gamale okuzzibwako.
Dr. Muhamad Kawuki akulira eddwaliro yategezezza nti abadde yakafuna omulimu mu kifo kino nti kyokka yasanga eddwaliro lilina ebbanja lya bukadde 12 obwamasanyalaze agaali gaakozesebwa mu kiseera nga taliiwo, kyokka nagamba nti bagenda kulaba nga ekizibu kino bakikwasaganya gaddemu gaake amangu ddala.
Akulira abakozi e Sembabule Willy Batalingaya yategezezza nti bamaze okukwatagana ne kitongole kya Umeme okulaba nga ekizibu kino kinogerwa eddagala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com