KKOOTI ensukulumu mu Kampala kyadaaki ekkirizza Omukulembeze we Kibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Sentamu okujjayo omusango gwe yali yawawabira munne bwe baavuganya mu kulonda okwaggwa Yoweri Kaguta Museveni.
Kyagulanyi yali yaddukira mu kkooti ensukkulumu nga awakanya okulondebwa saako n’okulangirirwa kwa Yoweri Kaguta Museveni nga agamba kwalimu ebilumira bingi.
Kino okubaawo kiddiridde Kyagulanyi okulaga nti talina bwesige mu kkooti eno, era nti embeera eyinza okuddirira eyinza obutabeera nnungamu ku ludda lwe.
Abalamuzi 9 ababadde bawuliriza bannamateeka ba Kyagulanyi ku lw’okutaano bonna awatali kwesalamu bakkirizza nti kituufu bwaba nga omuwaabi yasazeewo okujjayo omusango gwe yawaba tewali buzibu gujjibweyo.
“ Okusinziira ensonga zonna bwe zireteddwa wano, era nga zilaga nti omuwaabi ayagala omusango ye kenyini gwe yawaba guveeyo, okusaba kwe kukkiriziddwa” Omulamuzi Stella Arachi Amoko bwagambye nga asoma ekiwandiiko ku lwa balamuzi banne mu Kkooti ensukkulumu.
Agambye nti okusalawo kwabwe mu bujjuvu kujja kutegezebwa Ensi mu buwandiike gye bujjako saako ne nsimbi ez’okuliwa.
Kati kino kitegeeza nti okulonda okwaliwo nga 14, January omwaka guno eyawebwa obuwanguzi ye Yoweri Kaguta Museveni era kati ye Pulezidenti wa Uganda omulonde.
Ono ajja kulayizibwa mu mwezi gw’okutaano we watabeewo kikyuka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com