OMUBAKA wa Kawempe South mu Palimenti Mubarak Munyagwa Serunga alabudde Dr. Kiiza Besigye ku ntekateeka gyayagala okukomyawo mu Ggwanga egendereddwamu okukunga bannaUganda bagugube nga bwe kyali emyaka 5 emabega, namugamba nti bannaUganda bazibu ne bw’obalumirirwa tebasiima.
“Dr Besigye yabadde ansabye okumwegattako mu ntekateeka ye ey’okukunga abantu bagugube naye nze ebyo sibiliimu kuluno” Munyagwa bwe yagambye.
Gye buvuddeko Munyagwa yategeeza bannamawulire abamusanga ku Palimenti nti, okuva mu mwezi gw’okusatu omwaka oguwedde omukulembeze we Ggwanga bwe yalangirira omuggalo olw’ekirwadde kya Covid 19 yakakozesa ensimbi ezisoba mu bukadde 200 nga agulira abatuuze baakikirira emmere ne bikozesebwa ebilala.
“Okumanya bannaUganda tebasiima, ndabika nateekamu kinene kye nail silina kukola, kubanga nagaba obusawo bwa kawunga 45,000 nga ntaddeko n’omuceere.
Buli luvanyuma lwa myaka 2 mbadde nfuuyira ebiku mu maka agasoba mu 20,000, emmotoka ya balwadde Ambulence, nga kwotadde ne bifo 39 abantu we bajja amazzi ag’obwerere mu Kawempe.
Wabula ekyewunyisa bino bynna nabikola kyokka bannaKawempe tebabilaba ne basalawo okulonda Kazibwe Bashir era nalangirirwa ku buwanguzi.
Nze ndowoza nina ebilala eby’okukola naddala okulaba ku bantu bange ne Famire gy’embadde ndudde nga siwa budde olw’ebyobufuzi okusinga okulumirirwa bannaUganda abatefaako” Munyagwa bwe yagambye
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com