OMUKUBIRIZA w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca Alitwala Kadaga atabukidde abakulira ebitongole by’okwerinda ne ba Minisita nga ayagala baveeyo n’olukalala lwa bannaUganda bonna abaakwatibwa nga n’okutuuka kati bakyabalina.
Kadaga agamba nti Minisita we Nsonga z’omunda Gen. Jeje Odongo alabika yava ku biragiro bya mukamaawe Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni gye buvuddeko bwe yavaayo nategeeza nti ebitongole by’okwerinda bilina okuvaayo n’amannya g’abantu bonna baakwatibwa kun songa ez’ekuusa ku by’okulonda kwa 2021.
Ku lw’okusatu Omubaka wa Kawempe North Latif Sebaggala yavuddeyo nategeeza Palimenti nti yadde Pulezidenti yayisa ekiragiro kino kyokka be kikwatako bonna teri anyega.
Minisita Adolf Mwesigye ow’ebyokwerinda mu kusooka yategezezza nti mu kaseera ako yabadde talina bingi bya kwogerako, nga ensonga zonna yazitisse munne ow’ensonga z’omunda nga agamba nti yavunanyizibwa obuterevu okussa mu nkola ekilagiro kya Pulezidenti.
Wabula Kadaga yalagidde Minisita Jeje Odong alabikeko olwaleero mu lutuula lwa Palimenti anyonyole ensonga eno wetuuse.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com