ABABAKA ba Palimenti bakomezaawo ebbago lye tteeka erye myaka 5 egyassibwawo ku bisanja bya bakulembeze bifuulibwe bya myaka 7
Bano baagala kati ekisanja kissibwe ku myaka 7 sso ssi 5 nga bwe kibadde.
Akulira akakiiko ka mateeka mu Palimenti omubaka Jacob Oboth Oboth agamba nti bino byonna babikkanyizaako oluvanyuma lw’okukola okunonyereza ne bakizuula nti kyetaagisa.
Wabula omubaka wa Ndorwa West Wilfred Niwagaba gamba nti kino tebakitesangako mu milundi gyonna gye batuude okuteesa ku nsonga zino, nalaga nti ebbago lino mubaddemu okuzzawo ekkomo ku bisanja byabakulembeze omuli ne ky’omukulembeze we Ggwanga.
Agamba nti banne bwe bali ku kakiiko kano baasalawo okukomyawo ekye myaka 7 kkooti kye yagoba mu kusalawo okwali mu kooti e Mbale nga bannamateeka bawakanya okujja ekkomo ku myaka gy’omukulembeze we Ggwanga.
“Lino ebbago lyange nze nalileeta era lwe ngenda okuddayo okulyanjula mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu eby’emyaka 7 sigenda kubyogerako kubanga tetubitesangako wabula bya Mwami Oboth Oboth ne banne abatono” Niwagaba bwe yagambye.
Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2016 nga okulonda kwakaggwa Omubaka Judith Babirye yaleeta ekiteeso kino, bwe baali mu lusilika lwa babaka ba NRM e Kyankwanzi era ne kijja ne mu Palimenti wabula kkoti eyatuula e Mbale ne bigoba
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com