OMUMYUKA wa Ssentebe we kibiina kya NRM mu bukiika kkono bwe Ggwanga Capt. Mike Mukula alaze obwetaavu okukomyawo abavubuka abaali beewaggula ku kibiina kya NRM ate ne bagenda mu maaso ne bavuganya Ssentebe waakyo mu kulonda okuwedde, nagamba nti bano bagenda kubakomyawo bonna awaka bakolere wamu okusobola okutwala e Ggwanga mu maaso.
“Tulina okukola ekisoboka okulaba nga abavubuka bakomawo eka tutambulize wamu e Ggwanga kubanga bano baana baffe era tubetaaga” Mukula bwe yagambye bwe yabadde asisinkanye eyavuganyako ku kifo ky’obukulembeze bwe Ggwanga John Katumba mu Offiisi ye.
Yanyonyodde nti ne Kyagulanyi yali waabwe naye walabika waliwo ekyamunyiiza nasalawo okulumba entebbe ennene nti naye balina entekateeka namutayiika okulanba nga bamuzza atambulire wamu nabo mu NRM.
Yagambye nti kuluno Gavumenti yabwe egenda kulaba nga eyanukula ensonga eziluma abavubuka kubanga kyandiba nga waaliwo ebitaagenda bulungi mu kisanja ekiwedde ku side ya Gavumenti nabo, kye yagambye nti kilabika yeemu ku nsonga lwaki baagana okulonda NRM mu Buganda.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com