Eby’okulonda byakomekerezeddwa olunaku lw’okuna nga kati ekigenda okuddako kwe kulwanira ebifo omuli obukubiriza bw’olukiiko lwe Ggwanga olukulu.
Ekifo kino mu kiseera kino kirimu Omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Kamuli Rebecca Alitwala Kadaga era nga akimazeemu emyaka egisoba mu 10.
Ono agamba nti akyalina embavu okusigala nga akyakola omulimu gw’obukubiriza bw’olukiiko luno, yadde nga wavuddeyo abantu abalala okwagala okuvuganya ku kifo kye kimu.
Mu kisanja ekiwedde Kadaga okusooka yali nnyo ku mbilanye n’omumyukawe Jacob Oulanya, kyokka kigambibwa nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni naabatuuza ne bakkaanya, Oulanya nalekera Kadaga olwo ne kimuwa enkizo naye okuwangula Muhammad Nsereko ku ky’obumyuka.
Kuluno Omubaka wa munisipaari ye Kira mu Palimenti Ibrahim Semujju Nganda naye avuddeyo gawanye okujja avuganye Kadaga nga agamba nti alina enkizo okukola omulimu guno bannaUganda bafunemu.
Semujju agamba nti okusinziira ku bumanyirivu bwalina mu by’obukulembeze ekifo kino akisobolera ddala nga kino akyesigamya ku myaka 10 kati gyamaze nga mubaka saako ne mu buwereza obw’enjawulo bwabaddemu mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu, omuli okuba Nampala w’oludda oluvuganya mu Palimenti nga ekifo kino akibaddemu okumala emyaka 5.
Ono era abadde ku bukiiko bwa Palimenti okuli akanoonyereza ku nsasanya ye nsimbi z’omuwi w’omusolo kayite Public Accounts Committee, COSASE n’obulala bungi.
Semujju amanyiddwa nnyo nga omubaka aterya ntama bwe kituuka ku nsonga z’okunonyereza ku nsasanya ye nsimbi y’omuwi w’omusolo, eddembe ly’obuntu ne bilala.
Ono era munnamawulire omutendeke nga yakolerako mu lupapula lwa Daily Monitor saako ne The Observer ekimuwa enkizo okubeera omumanyi mu bintu eby’enjawulo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com