AKAKIIKO k’ebyokulonda mu Ggwanga kyadaaki kafulumizza ebyava mu kulonda okwaggwa ak’obwaPulezidenti abangi bye babadde balinze.
Omulamuzi Simon Byabakama akulira akakiiko kano bwabadde abifulumya ku lw’okuna agambye nti byonna ebyafulumizibwa mu kiseera ky’okubala obululu byava mu bifo eby’alonderwamu ebiwerera ddala 33,461.
Ategezezza nti gye byaggwera nga omuwanguzi yali Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni owa NRM nga yafuna obululu 6,042898 nga bye bitundu 58.38% ku buli 100, Ono yaddirirwa munnakibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu n’obululu 3,631,437 nga bye bitundu 35.08%.
Patrick Amuriat Oboi owa Forum for Democratic (FDC) yavaayo n’obululu 337,589 nga bye bitundu 3.26%, Joseph Kabuleta ataalina kibiina yafuna 45,424 ebitundu 0.44%, Nancy Kalembe Linda yafuna 38,772 ebitundu 0.37%, John Katumba yafuna obululu 37,554 ebitundu 0.36%, Nobert Mao owa DP yafuna 57,682 ebitundu 0.56%.
Ayongeddeko nti Willy Mayambala yafuna obululu 15,041 nga bye bitundu 0.15%, Mugisha Muntu Gregg naye yafuna obululu 67,574 ebitundu 0.65%, Omusumba Fred Mwesigye yafuna 25,483 ebitundu 0.25% ate munnamaggye Gen. Henry Tumukunde naafuna 51,392 ebitundu 0.50%.
Byabakama agambye nti bino bye byenkomeredde era nga byekenenyezeddwa bulungi abaali bakola ku ddimu ly’okugatta.
Mu kusooka waaliwo amawulire agasaasana ku mikutu gya mawulire nti waliwo ebyava mu kulonda ebyali byassibwa ku mukutu gwa kakiiko ke by’okulonda oluvanyuma ne bijjibwako, bino byonna omwogezi wa kakiiko kano Paul Bukenya yabisambajja era nategeeza nti abakugu baabwe mu nsonga za tekinologiya baali tebanaba kusaako kintu kyonna.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com