OLUKIIKO lwa Balabirizi be kkanisa ya Uganda baakutuula ku lw’okuna luno okuteesa ku nsonga eziwerako nga mwotadde ne za Ssabalabirizi eyawummula Kitaffe mu katonda Stanely Ntagali.
Ssabalabirizi Kazimba Mugalu yawummuza Ntagali ku mirimu gy’obusumba gye buvuddeko nga alangibwa okuba nti yetaba mu bikolwa eby’obwenzi ebikontana ne mpisa ze Kkanisa.
Mu bbaluwa Kazimba gye yawandiika nga 13 omwezi guno yalaga nti Ntagali yali tayinza kweyongerayo mu maaso n’abuwereza mu kkanisa olw’ebikolwa eby’obwenzi bye yakwatirwamu bwatyo namuwummuza ebbanga elitali ggere.
Ensonda mu kkanisa zilaga nti ekibonerezo ekyawebwa Ntagali mu lukiiko olugenda okutuula kiyinza okujjibwawo nti kubanga tekyakolebwa mu mateeka agafuga e kkanisa ya Uganda.
Kigambibwa nti Ntagali okuwebwa ekibonerezo kino okuva ewa munne eyamuddira mu bigere Kazimba, tewaliwo mitendera gy’agobererwa mu kusooka omuli okutuuza olukiiko lusooke luwulirize ensonga zino, saako navunanibwa okusooka okwewozaako nga bwe kisengekeddwa mu Ssemateeka we kkanisa, nga kino abamu ku balabirizi tebakisiima n’abamu okulaga nti waaliwo okunyigirizibwa.
Omuwandiisi w’olukiiko luno Rev. Cn. William Ogeng akaksizza okutuula kwo lukiiko luno, era nategeeza nti mu nsonga endala ezigenda okutesebwako mwe muli ne z’okuwummula kw’omulabirizi w’obulabirizi bwe Kampla Bishop Wilson Mutebi agamba nti yetaaga okuwummula olw’obulamu bwe okwongera okunafuwa.
Omulabirizi Mutebi gye buvuddeko yafuna obulwadde bwa kkansa w’omumusaayi nga mu kiseera kino afuna obujjanjabi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com