OMUKULEMBEZE we kibiina kya Nationala Unity Platform NUP Robert Kyagulanyi Sentamu awanjagidde ababaka be kibiina kye abayiseemu okwewala okukomba ku nsimbi za Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni zaayogeddeko nti zigenda kubajja ku mulamwa ogw’okulwanirira abantu ababalonda.
Okwogera bino Kyagulanyio abadde asisinkanye ababaka 61 ab’eKibiina kyakulembera NUP, mu makaage agasangibwa ku kyalo Magere mu Wakiso.
Ono gwe mulundi gwe ogusoose okwogerako eri bannamawulire okuva okulonda kwa nga 14 bwe kwaggwa.
Ono abadde yaggalirwa mu makaage ge nga takkirizibwa kufuluma yadde okwogerako n’omuntu yenna, okutuusa kooti bwe yasazeewo olunaku lwa mmande abakuumaddembe baamuke amakaage.
Mu kwogerakwe Kyagulanyi asabye ababaka ba NUP abalondeddwa okwewala okwekulubeesa ne Pulezidenti Museveni gwayogeddenti nti kati kyazaako kwe kubatega akanyebwa ka sente bave ku mulamwa ogwabatesezaamu obwesige abantu ababalonze.
“Mufube muwereze abantu mu lukiiiko lwe Ggwanga olukulu kubanga abantu babasuubiramu ebintu bingi naddala okukyusa embeera zaabwe, naye bwe munabalyamu olukwe mwenenyanga mwekka.
Nkimanyi nti Museveni agenda kubawa sente saako ne bifo mu kabineti naye mbasaba byonna mubigaane, yadde nga abamu kummwe bagenda kubatiisatiisa saako n’okusibwa naye temuvanga mu bantu baffe” Kyagulanyi bwagambye.
Anyonyodde nti olutalo lw’okujjako Gavumenti emaze mu buyinza emyaka 35 ssi lwangu bwatyo nasaba ababaka obutadda mu kwebaka nga balowooza baamaze.
Ku nsonga z’akalulu akakaggwa akalangirirwa akakiiko ke by’okulonda nti yafuna ebitundu 34 ku buli kikumi ate munne Museveni nafuna 58, agambye nti bino tebiriiyo kubanga ye kyamanyi nti akalulu akaggwa yakawangulira waggulu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com