OMULWANIRIZI we ddembe ly’obuntu Nicholas Opio eyakwatibwa gye buvuddeko nga avunanibwa emisango gy’okuyingiza ensimbi mu ggwanga mu ngeri emenya amateeka olwaleero asindikiddwa mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 11 omwezi gwa January.
Opio ye nannyini kitongole eky’obwanakyewa ekimanyiddwanga Chapter Four ekisangibwa e kololo mu Kampala.
Ono yakwatibwa wiiki ewedde ab’ebyokwerinda abamusanga mu kirabo kye mmere ekimu mu bitundu bye Kamwokya natwalibwa ku poliisi oluvanyuam gye yaggibwa nasimbibwa mu maaso g’omulamuzi eyakamutema nti teyalina buyinza kuwuliriza musango gwe.
Olwaleero Opio alabiseeko mu maaso g’akulira abalamuzi mu kkooti ento ku luguudo Buganda mu nkola eya Zoom Confrence nasomerwa emisango gy’okuyingiza ensimbi mu Ggwanga mu ngeri emenya amateeka, namusindika mu kkomera e kitalya okutuusa nga 11 omwezi gwa January.
Omulamuzi era awadde Opio omukisa okusaba okweyimirirwa yadde nga ennaku zaamuwadde tezinatuuka n’amusuubiza okumuwuliriza.
Kigambibwa nti Opio yasika ku akawunta ze kitongole kyakulira emitwalo gya doola egisukka mu 35, nga ensimbi zino tezimanyiddwa ngeri ki gye zaayingira mu ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com