BANNAMAWULIRE bavudde mu mbeera ne beediima obutaddamu kusaka mawulire agakwata ku by’okwerinda, nga entabwe evudde ku munnamaggye Brig. Henry Byekwaso kugaana kwetonda olwe byabaddewo ku sande e Masaka.
Ku Sande bannamawulire abawerako baakubiddwa bwe baabadde bakwata ebigenda mu maaso, omukulembeze we kibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Sentamu bwe yabadde ayita mu kibuga kye Masaka nga adda e Lwengo awabadde olukungaana.
Mu kiseera kino abawerako okuli Kasirye Ashraf owa Ghetto TV, Ali Mivule owa NTV nabalala banyiga biwundu mu malwaliro agenjawulo, kyokka nga n’okutuusa kati teri yadde wa byakwerinda yavuddeyo kuvumirira bikolwa eby’obukambwe abyabatuusiddwako.
Enkya ya leero bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku Ggwandisizo lya mawulire mu Kampala Brig. Henry Byekwaso abadde atumiddwa mukamawe omuddumizi we ggye lye Ggwaga ayogere ku mbeera y’olunaku lwa maggye olwa Talehe Sita asabiddwa yeetonde ku lwe bikolwa ebyobutujju ebyakoleddwa ku bannamawulire kyokka ne yerema nabo kwe kusituka wakati mu kulaga obutali bumativu ne bamulekawo.
“Tetujja kuddamu kukola bintu byamwe okutuusa nga mutwetondedde, saako n’okuwa omulimu gwaffe ekitiibwa, ffe naffe tuli bakozi abaagala omulimu gwaffe nga nammwe bwe mwagala ogwammwe mulina okutuwa ekitiibwa” Bannamawulire bwe bategezezza mu bukambwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com