MUNNAMAWULIRE Ashraf Kasirye owa Ghetto TV bwanawona e magombe ajja kusimbayo kitooke, oluvanyuma lw’okukubwa essasi ku mutwe bwabadde akwata ebigenda mu maaso mu kibuga kye Masaka nga omu ku beesimbyewo ku bwa Pulezidenti Robert Kyagulanyi ayitawo okugenda e Lwengo.
Ono essasi limukubiddwa abakuuma ddembe ababadde bagezaako okuziyiza abantu obutakungaana mu kibuga oluvanyuma lwa kakiiko ke by’okulonda okugaana enkungaana mu bimu ku bitundu bye Ggwanga.
Ghetto TV egambibwa okuba nti ya Robert Kyagulanyi era nga ekolera ku mikutu emigatta bantu.
Okusinziira ku kibiina kya NUP nga bayita ku mukutu gwabwe ogwa Face book bategezezza nti Kasirye akubiddwa essasi ku mutwe, nti era abadde avaamu omusaayi mungi ddala nga okuwona kwe kuyinza obutaba kwangu.
Ono addusiddwa mu ddwaliro okutaasa obulamu bwe,.
Kasirye ono yakolerako mu kitongole kya Vision Group, Uganda Radio Network nga kati akola ne Getto TV.
Bino webigidde nga akakiiko ke by’okulonda kaliko ebitundu mwe kaaweze enkungaana z’ebyobufuzi nga ne Masaka mwogitwalidde, nga entabwe yavudde kukuba nti ekirwadde kya Covid 19 kyeyongedde okusensera bannaUganda.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com