EFFUJJO ly’etobekedde ku kyalo Buntaba ekisangibwa mu Gombolola ye Kyampisi e Mukono ku lw’okubiri, abagambibwa okuba abawagizi boomu ku beesimbyewo mu kitundu kya Mukono North Abudallah Kiwanuka owa NUP bwe baalumbye emmotoka eyabadde etimba ebifananyi bya Pulezidenti saako ne bya Haruna Ssemakula nga ono yakwatidde ekibiina kya NRM bendera ku kifo ky’obwa Ssentebe bwa Disitulikiti ye Mukono, ne babakuba emiggo mizibu saako n’okwasa endabirwamu ze mmotoka mwe baabadde batambulira.
Okusinziira ku Ssemakula agamba nti yafunye amawulire nti abaana be balumbiddwa ku ssawa nga kkumi, era natemya ku Poliisi eyagenze ne bataasa.
Kigambibwa nti emmotoka eno eyabadde mu langi ze kibiina kya NRM Kyenvu, ebadde etambuliramu abavubuka okwetolola Mukono yonna nga ekola omulimu gumu gwakutimba bipande bya Haji Haruna Semakula saako ne bya Pulezidenti Museveni byokka.
Okusinziira ku baagibaddemu bagamba nti bwe baatuuse ku kyalo Buntaba nga kuno kwe kuli amaka ga munnaNUP Abudallah Kiwanuka baaganiddwa okutimba ebipande bya Museveni nga bino byakoleddwa abavubuka ababadde babagalidde emiggo era ne babategeeza nti mu kitundu ekyo bakkirizaamu ebifananyi bya bali ku kaadi ye kibiina kya NUP bokka, kye baagambye kyabadde kya bujoozi.
Baagenze mu maaso ne bagezaako okutimba ebya Ssemakula kyokka era ne babagaana n’okubalarika nti bajja kubatta ekyaddiridde kwe kuwulira nga amayinja ne biggo bitandise okubayitamu.
Abavubuka era tebakomye awo baagenze mu maaso era ne bayasa endabirwamu ze mmotoka zonna, saako n’okukuba buli eyabadde mu mmotoka eno era bangi kati banyiga biwundu nabalala bali mu malwaliro gye bapooceza.
Haruna Semakula bwatuukiriddwa ku nsonga eno agambye nti tamanyidde ddala lwaki abawagizi ba Kiwanuka basobola okukola kino, nti kubanga abadde tamulinaako yadde akakuku konna nga yadde balina endowooza za njawulo.
Anyonyodde nti kyasazeewo ensonga zonna kuzikwasa babuyinza, nti kubanga effujjo liyitiridde ate nga bbo nga abavuganya bino tebajja kubikkiriza kugenda mu maaso.
Omuduumizi wa Poliisi ye Mukono Abubaker Musiho agambye nti ensonga ezo yazitegeddeko, kyokka najuliza munne owe Naggalama nga yayinza okubaako kyayogera kubanga yatwala ekitundu ekyo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com