Maj Gen Paul Lokech akwasiddwa offiisi y’omumyuka wa SsabaPoliisi we Ggwanga mu butongole.
Ono asikidde Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi eyaddizibwa ku kitebe kya maggye gye buvuddeko ku bilagiro bya Pulezidenti era omuddumizi wa maggye ow’okuntikko Gen. Yoweri Kaguta Museveni.
Gen. Lokech okukwasibwa ekifo kino abadde ku mirimu emitongole egy’amaggye mu Southern Sudan.
Ono yasunsulwa akakiiko ka Palimenti akakakasa ababa balondeddwa omukulembeze we Ggwanga akakulirwa Sipiika Rebecca Kadaga ku lw’okutaano nga mu buli ngeri abadde alina okutandika okukola emirimu.
Ababaka abatuula ku kakiiko kano bonna bassa kimu ne bakakasa Lokech nga basinziira ku ngeri gye yabanyonyolamu okusinziira bwabadde akola emirimu gye bikwekweto mu maggye ate ne muvaamu omulamwa ne balaba nga ku kitongole kya Poliisi ajja kusobola.
Pulezidenti Museveni azze akyusakyusa mu bakulira ekitongole kya Poliisi nga ayingizaamu abamaggye, nga nolumu yagamba nti ekitongole kino kyavunda dda okusinziira ku nkola gye kikolamu emirimu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com