Ssabadiikoni w’eNdeeba mu bulabirizi bwe Mukono Rev Edward Balamaze Kironde akubirizza Abakulisitaayo okwanirizanga abaweereza ababawereddwa mu ma kkanisa gaabwe nagamba nti bano baba bazze kuwereza Katonda era beetaaga okukwata obulungi.
Rev. Balamaze agamba nti omulimu gwokuwereza omutonzi guba gwa kwewaayo nnyo, nga mu mbeera eyo omuwereza bwasanga abakulisitaayo abatambula obulungi ne kkanisa etambula.
Okwogera bino yabadde ku mukolo ogw’okwebaza katonda olw’omusumba w’eBugadu Rev. Patrick Abigaba okufuna obukadde bw’ekkanisa
Omukolo guno gwayindidde ku kitebe ky’obusumba bwe Bugadu mu Bussaabadikoni bwe Ndeeba nga eno gye yasinzidde nakubiriza abakristayo okussangamu abaweereza ku mitendera gyonna ekitiibwa kubanga baba batumiddwa gye bali okubakolamu omulimu ogw’etendo, kyokka ne yennyamira olwa Bakulisitaayo ate abadda mu kubalumba saako n’okubateekako empala gye yagambye nti telina gye twala kkanisa.
Oluvannyuma yasabye omusumba Patrick Abigaba eyakadiyiziddwa okumanya nti okuyitibwa kwe kwava eri katonda n’olwekyo buvunaanizibwa bwe okuliisa endiga zonna ezimuweereddwa mukisibo kye.
Ate ye omwawule Patrick Abigaba yeebazizza nyo basumba banne n’abakristayo abayimiridde awamu naye okutuuka ku kkula ery’obukadde bw’ekkanisa era ne yeebaza omubaka wa Ntenjeru North mu palimenti Amos Lugoloobi eyamudduukirira n’ekidduka mu kaseera akaali ak’okusomoozebwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com