OMUKULEMBEZE we kibiina kya National Unity Platform wamu ne kisinde kya People Power Robert Kyagulanyi Sentamu kyadaaki atuuse ku kitebe kya kakiiko ke by’okulonda mu Kampala oluvanyuma lw’okuyitibwa abeeko byanyonyola ku bikwata ku kumenya amateeka g’ebyobulamu nga akuba enkungaana.
Ono yali yayitibwa akulira akakiiko ke by’okulonda Omulamuzi Simon Byabakama wamu ne munne bwe bavuganya ku bukulembeze bwe Ggwanga Patrick Oboi Amuriat owa FDC okujja babeeko bye battaanya ku bigenda mu maaso riiso ku riiso kyokka ne bagaana okusooka.
Bano olunaku lwe ggulo baasindise ababakiikirira okugenda boogere n’abakakiiko kyokka Byabakama ne yereema nga agamba nti ayagala bbo benyini ab’esimbyewo.
Yabawadde olunaku lwa leero bonna balabikeko mu kakiiko oba ssi ekyo yabadde agenda kusalawo okusinziira ku buyinza obumuweebwa Semateeka we Ggwanga.
Omwogezi wa kakiiko ke by’okulonda Paul Bukenya yategezezza bannamawulire eggulo nti baabadde tebasobola kusisinkana babaka ba beesimbyewo be baasindise nti kubanga waabaddewo ensonga ezetaagisa bbo benyini okuttaanya awatali kukiikirirwa.
Olwaleero ku ssawa 4:00 ez’okumakya Kyagulanyi atuuse ku kitebe kya kakiko ke by’okulonda, era nga abakakiiko babadde bakyalindirira ne Amuriat olukiiko lutandike mu butongole.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com