AKULIRA ekisinde kya Renewed Uganda era nga yomu ku bavuganya kuntebe y’obukulembeze bwe Ggwanga munnamagye eyawumula Gen. Henry Tumukunde asekeredde abatuuze mu bitundu bye Teeso abalowooza nti enteekateeka y’emyoga yegenda okubajja mu bwavu obubazimbyeko akayumba, nabawa amagezi beekolere ebyabwe kubanga enteeka teeka nga zino zibaddewo naye tezirina kye ziyambye kukyusa ku mbeera bannaUganda mwe bali.
Tumukunde ategezezza nti etekateeka ez’ekikula kino zizze zitekebwawo Gavumenti naye nga zonna tezisobodde kubaako kye zikola ku kukyusa obulamu bwa banuaUganda okujjako okw’ongera okubanyika munvuba.
Ono anokodeyo enteekateeka eyali emanyiddwa ng’entandiikwa nga naabamu bagikazaako Eya Kisamba Mugerwa, Bonna bagaggawale, Youth livelihood program n’emyoga egiriwo ensangi zino, nti bino byonna Gavumenti ebikola kusikiriza bannaUganda bweba nga eriko kyeyagala okuyisawo ng’eyita mu byobufuzi naddala mu biseera by’obululu n’abalabula obutakola nsobi kuddamu kulonda Gavumenti ya NRM.
Yabajjukizza abaana baabwe abaali mu lutalo lw’okulwanyisa Kony ne Lakwena abaali bamanyiddwanga Arrow Boys, nagamba nti bano baakola omulimu naye tebasasulwa, mu ngeri eyo nabawa amagezi bamulonde kubanga amanyidde ddala omulimu amatendo gwe baakola nga omuselikale nti era ajja kubasasula amaanyi gaabwe ne biseera bye bawaayo okutaasa e Ggwanga mu kiseera ekyo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com