Norbert Elber Ariho nga ono yoomu ku ba kanyama abakuuma Hon. Robert Kyagulanyi Sentamu eyesimbyewo ku bukulembeze bwe Ggawanga kyadaaki ayimbuddwa ku kakalu ka kooti okuva mu kkomera.
Ono yakwatibwa bwe yali ne mukamaawe e Manafwa week ewedde naggulwako omusango gw’okukuma mu bantu omuliro era gwe gumusomeddwa omulamuzi wa kooti ento e kayunga.
Ono alagiddwa okusasula ensimbi akakdde kamu ak’obutaliiwo.
Kigambibwa nti Ariho ne banne baakola effujjo saako n’okukuma mu bantu omuliro mu kabuga ke Kyampisi e Kayunga Kyagulanyi bwe yali agenda e Jinja.
Wano amasasi gaavuga saako n’omukka ogubalagala nga kyava ku bawagizi okwegugunga nga Poliisi elemesezza omuntu waabwe okutambula era bangi ne balumizibwa, era emmotoka ya kyagulanyi neekubwa amasasi.
Oluvanyuma waaliwo ne byayitingana nti Ariho yali akasuse akakebe ka ttiya gaasi okumpi ne mmotoka ya Kyagulanyi nga amawulire gano gaava mu Camp yaabwe yenyini mu katambi akaasindikibwa ku mikutu gya mawulire emigatta bantu.
Bannamateeka abakulembeddwa Shamim Malende be bayambye Ariho okuva mu Kkooti.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com