OMULABIRIZI we Mukono Kitaffe mu katonda James William Ssebaggala asabye Gavumenti ya Uganda okuvaayo bunnambiro okutaasa ettaka ly’amasinzizo elitwalibwa bannakigwanyizi.
Bino Omulabirizi Ssebaggala yaby’ogeredde mu Busabadiikoni bwe Mpumu obuggya obw’akutuddwa ku Busabadiikoni bwe Ngogwe nga bwakutandika okukola omwaka ogujja saako n’oBusumba bwe Namakwa ku Kkanisa ya St Stephen ku kitebe ky’Obusumba mu Busabadiikoni bwe Nassuuti mukaweefube gwaliko ow’okusisinkana abakulembeze ba amakkanisa n’okubazzaamu amaanyi oluvannyuma lw’okugyibwa ku muggalo.
Kinajjukirwa nti Omulabirizi Ssebaggala nga yakatuuzibwa mu Bulabirizi buno yasanga kisaddaaka baana nga kikute wansi ne waggulu era n’abeera musaale nnyo okulaba nga ebikolwa bino bilwanyisibwa, era wano we yasinzidde n’ategeeza nti ekibba ttaka ly’ekkanisa kiyitiridde, nasabye Gavumenti okuteeka ennyo essira ku Ttaka ly’amasinzizo kubanga oli ayinza okulowooza abbye puloti naye abera atutte lya kkanisa ya Uganda yonna.
Ye Ssabadiikoni w’e Ngogwe Ven Rev Charles Bukenya bweyabadde ayogerako n’abakulembeze bano yabebazizza okukola ennyo okusingira ddala okuwagira Obulabirizi era wano we yabasiibulidde n’abasaba okukola n’amaanyi nga batandika Obusabadiikoni bwe Mpumu.Mukomye okunyaga ettaka lye Kkanisa, Omulabirizi Ssebaggala akangudde ku ddoboozi
Mu ngeri y’emu Ssabadiikoni omulonde ow’eMpumu Ven Robert Kiwanuka Mulinde nga yabadde omusumba w’Obusumba bwe Mpumu yategeezezza nti kaweefube gw’ebatandise wakumaliriza ennyumba ya Ssabadiikoni ate n’okugula ebyo ebyetaagibwa ebiteekwa okubeera ku kitebe ky’Obusabadiikoni buno obupya.
Wabula ye Ssentebe w’ababaka ba palamenti abava mu Buganda mu lukiiko olukulu olw’eGgwanga nga ye mubaka wa Mukono ey’amaserengeta Hon Johnson Muyanja Ssenyonga yekokodde obubbi bw’ettaka ly’ekkanisa obukyase ensangi zino ate nga buzingiramu ne bassentebe be byalo n’awanjagira abaweereza be kkanisa okuvaayo okulwanyisa omuze guno.
Muyanja era yasabye abakristaayo b’Obussabadiikoni bw’eMpumu obuggya okutwala obuweereza ng’ensonga enkulu n’okulaba ng’ekitundu kino kikulakulana n’abasaba okulonda abakulembeze ab’ensonga.
Ate ye Omusumba w’Obusumba bwe Namakwa Rev John Musoke yagambye nti abakulisitaayo bangi tebakyalina kwagala okwasooka abalala okukungaana kutono nnyo mu kkanisa nagamba nti n’amaka mangi galimu obutabanguko ekissizza ennyo obukkiriza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com