Kyadaaki kikakasiddwa nti akulira Ddaawa mu kiwayi kya bayisiraamu e Kibuli Sheik Nooh Muzaata Batte afudde!!
Muzaata abadde yatwalibwa mu ddwaliro lya International Hospital Kampala IHK nga atawanyizibwa obulwadde obutanategerekeka, obwamukwata oluvanyuma lwa mukyala we Kuluthum Nabunya okumwabulira mu maka gaabwe agasangibwa e Kawempe.
Amawulire gano gakakasiddwa omukutu gwa mawulire ogw’obuyisiraamu gu Salam TV, era ne basaasira ab’enju ya Muzaata.
Gano galese abayisiraamu mu Ggwanga bonna nga bawotose kubanga Muzaata abadde musajja omuyisiraamu aterya ntama ku nsonga ezikwata ku ddiini ye.
Ono buli kadde abadde avaayo nayogera ku nsonga eziruma abantu nga tatisibwatiisibwa era nga abadde atabukira buli ludda kasita wabaawo okusobya.
Mu kiseera kino omulambo gwa Muzaata gukyali mu ddwaliro lya IHK nga bwe balinda enteekateeka eziddako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com